Ssaabasajja Kabaka asiimye naawa abaami be ensimbi obukadde kkumi na butaano n’ekitundu (15, 500,000) zibayambeko mu kwongera enkulaakulana mu bitundu byabwe wamu n’okwongera amaanyi mu nteekateeka z’obwakabaka.
Zino zensimbi Ssaabasajja Kabaka zeyabawa mu kukuza olunaku lwa Gavumenti ez’ebitundu ne bulungibwansi e Ntenjeru mu Kyaggwe omwaka oguwedde.
Mu nkola eyagunjibwawo obwakabaka ey’okusala empaka ku mitendera egy’enjawulo okuli; e gombolola esinze okutuukiriza enteekateeka z’obwakabaka wamu n’okuteekawo enkulaakulana ku mbuga zaabwe, e Ssaza erisinze okuteekawo enkulaakulana, obwerufu, okukuuma ebiwandiiko, n’okujjumbira enteekateeka z’obwakabaka, omulimi asinze okwerwanako nga muvubuka n’ebirala.
Bwabadde abakwasa cheque, Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu owek Joseph Kawuki, abakuutidde okukozesa obulungi ensimbi Beene zaabawadde bekulaakulanya nga bongerako ku nkulaakulana gyebatuuseeko mu bitundu byabwe.
Ensimbi zigabanyiziddwa mu mitendera esatu;
1.E Gombolola esinze okwekulaakulanya mu 2018
Ssaabaddu ntenjeru 1m,
Mutuba iii Makindye 500,000,
Ssaabagabo nsangi 500,000,
Mumyuka Mukungwe 500,000)
2. E Ssaza eryasinga amalala
Kyaggwe 7.5m
Busiro 2.5m)
3. Omulimi asinze okwerwanako
Sseruyange Ronald (Bugerere 1.5m)
Godfrey Ssebunya (Buddu 1m)
Kakeeto Ben (Buddu, 500,000).