Ssaabasajja Kabaka yasiimye nakyaza omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni mu Lubiri e Banda.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni awuubyeko olubu lw’ebigere mu Lubiri e Banda naasisinkana Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ne babaako byeboogeraganya. President Museveni yatuuse mu Lubiri ku Ssaawa ttaano n’eddakiika asatu (11:30am) nga yayaniriziddwa mukulu munne Ssaabasajja Kabaka.
Oluvannyuma Beene yayanjulidde president abantu ab’enjawulo abazze okumwaniririzaako president okuli, Katikkiro Charles Peter Mayiga, Ambassador Emmanuel Ssendaula, Ambassador Bill Matovu, Owek Joyce Mpanga, Omulangira Daudi Wasajja, n’omuwandiisi wa Kabaka ow’ekyama. Ku ludda lwa President, yawerekeddwako Ssaabawolereza wa Uganda William Byaruhanga ne Minisita Evelyn Anite.
Bayogedde ku nsonga z’ettaka era nga President yalagidde Minisita w’ebyettaka ebyapa byonna ebyamala okukakasibwa nga bya bwakabaka , bikyuusibwe bikwasibwe obwakabaka. Era President alagidde obwakabaka busasulwe obuwumbi 3 ku mabanja obuwumbi 6 Buganda zebanja Gavumenti. Era alagidde mu mbalirira ya 2019/2020, obwakabaka busasulwe obuwumbi 23.5 kwezo ensimbi ezaabalirirwa mu bizimbe okuli King Fahad plaza ne Muteesa house e Bungereza.
Oluvannyuma Ssaabasajja ne President bayingidde akafubo akamalidde ddala essaawa ezikunukkirizza ebbiri.