Ssaabasajja Kabaka agenze Bugirimaana – Katikkiro

Katikkiro ategeezezza Obuganda nga Ssaabasajja Kabaka bwali wabweru w’eggwanga gyeyagenze ku nsonga ezitali zimu.
Bino Katikkiro abyogedde mu lukungaana lwa bannamawulire ku Bulange.
Okusinziira ku Katikkiro, Ssaabasajja Kabaka yagenze kusisinkana bannamikago abamukwatizaako mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’ekibiina kya Kabaka Foundation.
Ensonga endala yakugenda kulaba basawo bekeneenye embeera y’obulamu bwe nga bweri.
Mu lugendo luno Ssaabasajja yasookedde Amsterdam ng’eno yayaniriziddwa Omubaka wa Uganda e Brussels ne Amsterdam, Amb. Mirjam Black Sow.
Oluvannyuma Beene yeyongeddeyo e Germany ng’eno yayaniriziddwa Omubaka wa Uganda mu Ggwanga eryo Amb. Marcel. R. Tibaleka n’Omumyukawe Amb. Danny Ssozi, abaweereza ku kitebe kya Uganda mu Germany okuli, Muky. Adhiambo Claire (3rd Secretary), Muky. Betty Naggombe (Administrator), ne Mw. Jude Mulindwa (Finance Attaché).
Katikkiro agambye nti ekitongole kya Kabaka Foundation nga kiyita mu bannamikago baakyo kitumbudde eby’obulamu bw’abantu ba Uganda okuli, okugema Hepatitis B, okussaawo kaweefube w’okugaba omusaayi, ensiisira z’eby’obulamu, wamu n’okusomesa abaana mu kaweefube w’okutumbula eby’enjigiriza
Leave a Reply