Ssaabasajja Kabaka aggaddewo ekivvulu ky’ennyimba z’amasomero

Ssaabasajja Kabaka aggaddewo ekivvulu ky’ennyimba z’amasomero ku mukolo oguyindidde ku Mengo senior School.

Bwabadde akwasa amasomero amawanguzi engule, Ssaabasajja agambye nti kisanyusa nnyo okulaba nga ekitongole ky’ebyenjigiriza kikomezzaawo ensonga enkulu ekwata ku ngeri abaana gyebasomesebwamu. Wabula ategeezezza nti enteekateeka yonna ey’ebyenjigiriza yandyesigamiziddwa ku kwanukula ebibuuzo bisatu;
1). Ggwanga lya ngeri ki, ggwanga lya kika ki lyetusuubira okuzimba.
2). Biki byetunaasomesa abaana baffe okusobola okuzimba eggwanga lyetuluubirira.
3). Tunaasomesa tutya ebintu ebyo.

Ssaabasajja agambye nti abasomesa n’abazadde bamanyi bulungi nti ensonga ezo nkulu ddala era beetaaga okuzigoberera singa balina omutima ogw’okulaakulanya eggwanga nga bayita mu kuzimba ebitone n’okwagazisa abaana okusoma ebyo ebinaabayamba n’okuyamba eggwanga lyonna okutwalira awamu.

Beene agasseeko nti “tulina obusobozi bungi nnyo mu ggwanga lino bwetuba nga twagadde okukyuusa ensi yaffe. Singa amasomero gaffe gatandika okutunuulira obusobozi bw’omuyizi gamba nga mu bitone nebyasobola okukola nga akozesa emikono gye. Okutuuka ku kino n’abasomesa nabo balina okusomesebwa ku nsonga ey’okuzimba ebitone byabaana ate era n’okwejjamu endowooza egamba nti emisomo gy’ebyemikono gikolebwa abo abanafu era abatayise bigezo.
Lubiri High School liwangudde engabo ya Kuno kwekwaffe n’akakadde kamu, ate Lubiri Nnabagereka liwangudde engabo Ssanyu Lya Buganda n’akakadde ka ssente.

St. Lawrence Sonde lyeriridde mu malala gonna akendo, bano Beene abawadde engabo n’akakadde kamu n’ekitundu
Ate mu mutendera gwa primary, Setlight Quality Primary School lyerisinze.

Ekivvulu kino kibeerawo buli mwaka era amasomero agawerako getabamu negavuganya mu kuzina amazina, okutontoma, okuzannya omuzannyo, n’okuyimba.

Leave a Reply