Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alabiseeko eri Obuganda enkya ya leero okuggulawo olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 24 olutuula mu mbuga enkulu e Bulange Mengo.
Beene atuuse ku ssaawa nga ttaano ezokumakya wakati mu namungi w’abantu abadde alinze okumwaniriza era bw’atuuse n’alamusa engoma Mujaguzo ne Buganda Bumu ate oluvannyuma n’ayolekera olukiiko.
Mu kwogera kwe Omutanda avumiridde omuze ogukyase ogw’okubuzaawo n’okusaddaaka abaana, n’akoowoola Gavumenti eya wakati okuggyayo enjala okukanngavvula abo abeenyigira mu kwonoona eddembe lyabwe.
Omutanda ayongeddeko bwati ; “Tusaba abazadde okufaayo ku ntambula z’abaana baabwe n’abo bebalekera abaana”.
Ssekaliba ka Ngo akulisizza abo bonna abeeyanzizza obwami n’abasaba ensonga z’ebika okuzissa ku mwanjo.