Ebifaananyi ebyenjawulo nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aggulawo olutuula lw’Olukiiko olwa 29 ku Bulange. Awerekeddwako Nnabagereka Sylivia Nagginda, Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga, Omulangira David Kintu Wasajja, Ssaabalangira Godfrey Musanje, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, n’Abataka ab’enjawulo.
Omukolo gwetabiddwako Supreme Mufti Muhamood Galabuzi, Ssaabaganzi, n’abakungu abawerako.