Ssaabasajja Kabaka alambudde e Ssaza lye erye Bugerere

Ssaabasajja Kabaka alambudde e Ssaza lye erye Bugerere mu kwetegekera okukuza olunaku lwebyobulamu mu Buganda.

Omutanda atuuse ku mugga Ssezibwa ku ssaawa ttaano ez’okumakya nga ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, omumyuka wa Katikkiro asooka Prof Twaha Kigongo Kaawaase, Omwami w’essaza Kyaggwe, n’owa Bugerere wamu n’abaami ba Kabaka ku byalo n’abakulembeze ba Gavumenti ya wakati kko ne nnamungi w’omuntu okuva e Bugerere.

Beene asookedde ku mwalo e Kawongo mu gombolola ye Galiraya, ng’eno alambudde olusiisira lw’eby’obulamu olwategekeddwa okuwa abantu obujjanjabi obusookerwako wamu n’okwekebeza akawuka ka mukenenya.

Mu bubaka bwe, Ssaabasajja akubirizza abazadde babaana naddala abaana abato bafeeyo nnyo okulaba nga abaana baabwe bwebaba nga balwadde bagende bafune obujjanjabi. Omutanda era asabye abazadde bagezeeko okulaba nga abaana baabwe basoma, befiirize kubanga abaana eggwanga libeetaaga nga balamu ate nga basomyeko

Ssaabasajja bwavudde e Kawongo, ayolekedde ku ssomero lya Kitimbwa RC erisangibwa mu gombolola ye Kitimbwa. Eno Ssaabasajja alambudde olusiisira lw’eby’obulamu era agemye omwana. Beene asinzidde Kitimbwa naasaba abasawo okunyikira mu buweereza bwabwe kubanga buyamba eggwanga naddala ensi ezikyakula zetaaga abantu baazo nga balamu okusobola okugenda mu maaso.

Leave a Reply