Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 asiimye omwana omuwala Yvonne Namaganda eyafiira ku myaka mwenda ng’ataasa bayizi banne mu muliro ogwakwata essomero lya Buddo omwafiira abayizi mwenda, amuwadde ekitiibwa ky’amafumu n’engabo .
Okumuwa ekitiibwa kino, Ssaabasajja Kabaka asinzidde mu Bulange e Mengo ng’aggulawo Olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 25 era nga awamu asiimye abantu musanvu n’ekitiibwa kino omubadde Katikkiro eyawummula Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, Omugenzi John Ssebaana Kizito, Omugenzi James Mulwana n’abalala basatu.
Mu Lukiiko lwelumu mubaddemu okweyanza obukulu eri Ssaabasajja Kabaka okuva mu bantu ab’enjawulo era nga Olukiiko luno lwetabiddwamu Omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi, Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago, nankulu wa Kampala Jennipher Musisi Ssemakula, Meeya wa Lubaga Joyce Nabbosa Ssemuggwawo, abataka abakulu ab’obusolya, ab’amasaza n’abalala nkumu ab’ebitiibwa.