Ssaabasajja Kabaka aweerezza obubaka obusaasira abantu b’e Teeso

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aweerezza obubaka obusaasira abantu b’e Teeso olw’okufiirwa omukulembeze waabwe ow’ennono Emorimor Papa Augustine Osuban Lemokol.
Ssaabasajja agambye nti Emorimor okuva lweyalondebwa okukulembera Teeso, akuumye ekitiibwa ky’obulembeze n’enkolagana ennungi n’Obwakabaka.
Ono amwogeddeko ng’omuntu abadde munnabyankulaakulana, bwatyo n’abasaasira olw’okufiirwa kuno.
Obubaka buno bwetikkiddwa omumyuka asooka owa Katikkiro Dr. Prof Twaha Kigongo Kawaase ku mukolo gw’okusabira omwoyo gwa Emorimor ku Soroti sports Grounds.
Leave a Reply