Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alaze abavubuka nga bwebali abasaale mu kukuuma olulimi Oluganda.
Bino bibadde mu bubaka Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwatisse Nnaalinnya Lubuga, Agnes Nabaloga, ku mukolo gw’okukuza ennimi ennansi mu nsi yonna wamu n’okujaguza nga bwejiweze emyaka 34 bukya kibiina kya Nkobazambogo kitandikibwawo, era n’okuggulawo e kaddiyizo ery’e byafaayo bya Ssekabaka Sir Edward Muteesa II mu ssettendekero wa Makerere University.
Ssaabasajja ategeezezza nti;
“Twebaza nnyo abo bonna abakoze omulimu ogwettendo okuddaabiriza nokukola ekaddiyizo.
Nga bannanyini buwangwa, twagala okwebaza eggwanga lya Bangladesh eryaleeta ekirowoozo ekyokukuza ennimi ennansi.
Omulamwa gw’omwaka guno, gutulaga nti tuli muntu omu naye ennimi zezaawukana, byetujaguza leero tubitwale ne mu maka gaffe.
Nsanyusa okuwulira nti Nkobazambogo ekoze omulimu munene mu nteekateeka yomukolo guno, okwetabamu kuno naddala abavubuka kabonero akalaga nti ffe kennyini buvunaanyizibwa bwaffe okukuuma n’okutaasa olulimi lwaffe watali kulufeebya.
Nga tujjukira nga bwejiweze emyaka 34 egya Nkobazambogo, tetusaanye kwerabira ekibiina kyebaddira mu bigere ekya “Baana ba Buganda” kyali kyamaanyi nnyo mu myaka gye 60″.
Nnaalinnya Nabaloga awaddeyo ebitabo by’olulimi oluganda eri Makerere University bikozesebwe mu kusomesa abayizi.