Ssaabawaabi wa Gavumenti Mike Kibita ayise omusango gw’omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Lwengo , Cissy Namuju ogumuvunaanibwa olw’okujingirira empapula z’obuyigirize .
Mu kiseera kino omusango guno guwulirwa omulamuzi wa Kkooti ento e Masaka , Aisha Nabukeera era nga okuva lwegwatandika okuwulirwa abajulizi basatu be baakeesowolayo okulumiriza Namuju mwemuli Baker Byayi nga ono mutuuze mu Disitulikiti y’e Lwengo era yeeyatwala ensonga zino ku Police .
Byayi agamba nti ebiwandiiko bya ssiniya eyookuna n’eyoomukaaga Namuju byeyawaayo okusunsulwamu yajingirira bijingirire kubanga yawanduka mu ssomero nga tamalirizza S .4 ne S. 6 .
Wabula ku bbalaza ya ssabbiiti eno obujulizi mu musango guno lwebwali bulina okuggwayo naye nga fayiro zaagwo teziriiwo .
N’olwekyo Omuwolereza wa Gavumenti omukulu e Masaka , David Bakibinga agamba nti fayilo esindikiddwa e Kampala Ssaabawaabi wa Gavumenti agitunulemu .