SSEGIRIINYA BAMUTADDEKO ABAKUGU 4 OKUMWEKEBEJJA – FOX ODOI

Hon. Fox Odoi avuddeyo nategeeza Palamenti nti Director General w’eddwaliro ly’e Mulago ataddewo ttiimu y’abakugu okuli; ED Mulago, omukugu mu by’emitima, infectious disease specialist, ne endocrinologist okwekebejja Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Ssegiriinya Muhammad aka Mr Updates bazuule ekituufu ekimuluma era baveeyo ne alipoota bagiwe Minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng Ocero wamu ne Sipiika Jacob Oulanyah olunaku lw’enkya nga 4-Nov-2021 wamu nokuwa amagezi ku kiki ekirina okukolebwa okulaba nti Omubaka afuna obujanjabi.
#PlenaryUg
Leave a Reply