SSEGIRIINYA NKUGGYAYO, KIDANDALA YESOMYE;
Sulaiman Kidandala addukidde mu Kkooti Enkulu mu Kampala nga ayagala eggyeyo Omubaka omulonde owa Kawempe North, Muhammad Ssegiriinya Munnakibiina kya National Unity Platform (NUP) olwokuwaayo ebiwandiiko byobuyigirize eri Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Electoral Commission Uganda ye byagamaba nti bijingirire.
Kino kizze oluvannyuma lw’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board-UNEB okuvaayo nekitegeeza nti Centre Number U0053 gyagamba nti ya Pimbas Secondary School ya Mengo Secondary School ne index number ziri mu mannya malala agabayizi abawala.