Ssemaka mu Disitulikiti ye Kisolo apookya nabiwundu, asimattuse mukyalawe okumukekyulako obulya enkoko lwa bwenzi .
Micheal Mfitukumiza , omutuuze mu Municipali ye Kisoro alumbiddwa mukyalawe Florence Chimpaye mu makola g’ebyemisana amangu ddala nga y’akadda okuva gy’amuteebererezza nti ava mu bwenzi ku muliraano .
Chimpaye ateeberezebwa okugwa mu nsigo za bba ekiyiifuyiifu okuzisalako n’akambe akoogi . wabula balirwana bawulidde mangu enduulu ne bataasa era omusajja ono n’addusibwa mu ddwaliro ly’e Kisoro ng’ataawa .
wabula ye Chimpaye wetwogerera ng’aggaliddwa mu mu kaduukulu ku Police ye Kisoro .
Ye aduumira Police ye Kisoro Edgar Akankwasa asabye abafummbo okweyanbisanga ab’obuyinza okugonjoola ensonga zaabwe mukifo ky’okutwalira amateeka mu ngalo .