Ssemaka asse mukazi we naye neyetuga

Waliwo Ssemaka asse mukyala we mubukambwe wabula oluvanyuma naye neyetuga. Bino bibadde ku kyalo Ngeye mu ggombolola ye Busaana mu Disitulikiti y’e Kayunga Ssemaka ategerekese nga ye Oyo Tonny bwakakanye ku Mukyalawe gwalinamu omwana omu Kantono Sarah abadde atemera mu gy’obukulu 27 namukuba embazzi ku mutwe n’amuttirawo. Ono olumaze okutirimbula mukyala we kwekukirira mu kibanja kye neyetugira ku muti gw’omuyembe nga akozesa leesu ya mukyala.Wabula ye omwana waabwe ow’emyezi 7 gyokka ye asobodde okusimattuka okutibwa wadde nga Taata we ono agezezaako naye okumutta. Oluvannyuma Poliisi y’e Kayunga etuuse mu kitundu kino n’eggyawo emirambo gyombi n’oluvanyuma n’egitwaala mu ggwanika ly’omu ddwaliro ly’e Jinja nga okunoonyereza kwa Poliisi bwekugenda mu maaso.

Leave a Reply