Ssemujju naawe ojja kufa – Dr. Warren Namara mukwano gwa Gen. Tumwine

Mukwano gwa Hon. Gen Elly Tumwine – MP, Dr .Warren Namara yawanze omuliro mu lumbe olwakumiddwa mu maka gomugenzi. Ono yalumbye Omubaka Munnakibiina kya Forum for Democratic Change – FDC owa Kira Municipality namutegeeza nti naye ajja kufa nga Gen. Tumwine bwafudde. Ono era yalumbye nabalala abamwogerako byeyayise ebikikinike ku social media beyayise ebimongwa nabategeeza nti omwoyo gwa Tumwine weguli mulamu.
Ono agamba nti Hon. Nganda tamanyi Gen. Tumwine kyayakolera Yuganda nga Minisita webutebenkevu. Ono agamba nti Hon. Nganda asobola kati okutuula nanywa ka chai lwa mulimu Tumwine gweyakola.
Leave a Reply