Ssemujju ne banne abalala 7 bayimbuddwa

Omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemuju Nganda ne banne abalala 7 abakwatiddwa Uganda Police olwaleero nga bagambibwa okufuuka ebingingiri ku nguudo basimbiddwa mu maaso g’Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road nebavunaanibwa okukyankalanya entambula y’ebidduka. Abakwatiddwa kubaddeko; Ssemujju Nganda, Ingrid Kamateneti Turinawe, Masurudin Basalirwa, Abdul Ssebyala Bukenya, Nobert Chaku, Faridah Nangonzi ne Hillary Atwongirwe.

Bano bakwatiddwa okuva ku luguudo lwa Ssezibwa nga babadde batambula boolekera Kitebe kya Ggwanga lya Kenya ekisangibwa e Kololo nga baagala bafune okunyonyolwa ku bantu baabwe abakwatibwa mu Ggwanga lino wamu nabakakwatibwa okuli; Dr. Kiiza Besigye ne Hajji Obeid Lutale.

Bano babadde bambadde t-Shirt eziriko ekifaananyi kya Dr. Besigye ne Hajji Lutale nga kuliko ebigambo; “Bawambibwa mu Kenya”.

Bano 8 begaanye omusango mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Mwesiga Dan era bwebatyo nebasaba okweyimirirwa. Bano baleese ababeyimiridde okubadde; Faridah Babirye, MP Francis Mwijukye, Joshua Kiddam Lord Mayor Elais Lukwago, Wafula Ogutu ne Gadson Mutabazi.

Omuwaabi wa Gavumenti Ivan Kyazze wabula asabye Kkooti okusooka okwekeneenya ebbaluwa za LC ezireeteddwa abagenda okweyimirira abantu bano wabula omulamuzi nakiwakanya nakiriza bano okweyimirirwa ku kakalu ka Kkooti obukadde 20 ezitali zabuliwo.

Leave a Reply