Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Rubanda Prossy Mbabazi avuddeyo nakiriza okufuna ensimbi z’akasiimo wabula nategeeza nti ensimbi zino yaziwa ebibiina by’abakyala mu kitundu kyakiikirira.
Mbabazi ategeezezza nti ensimbi obukadde 400 yazifuna wabula naziwa abantu be bakiikirira, bino yabyogeredde ku mukolo gwolunaku lw’abakyala olwabadde e Rubanda.
Mbabazi; “Nali waddembe okukozesa ssente zino mu bintu ebyange nga tewali ankuba ku mukono wabula nasalawo okuziwa abantu kuba bamugaso nnyo gyendi.”
Mbabazi bweyabadde ayogera ku mukolo ogwabadde ku kisaawe kya Kacerere mu Gombolola y’e Bufundi, yategeezezza nti awulidde bangi nga balekaana ku kasiimo kebegemulira wamu n’okukuŋŋaanya emikono okuwaayo ekiteeso ekibaggyamu obwesige nategeeza nti bino byonna ababikola babikola lwabyabufuzi naye tebirina webigasiza Bannayuganda.
Ye Minisita Omubeezi iw’ebyensimbi Henry Musasizi yategeezezza nti Abakulembeze ababba ssente y’omuwi w’omusolo ssente zino ate tebaziteeka mu bintu ebiyamba abantu bebakiikirira. Ono yakubirizza Ababaka okuwagira enkola za Gavumenti nayongerako nti bangi ekibabbisa ssente kwekuba nti betikka ebizibu byebitudu byebakiikirira so nga Gavumenti erina enkola ezibimalawo nga balina kuziwagira.