Ssentebe wa Disitulikiti y’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika agamba nti Disitulikiti teggya kuliyirira muntu yenna naddala nga ettaka lye lirina engeri gyelyasengebwako mu kiseera ekyokuzimba n’okukola enguudo mu bitundu eby’enjawulo ebya Disitulikiti eno.
Kino kiddiridde abantu abawerako gamba ng’abali mu bitundu by’e Kyebando, Nansana, Bujuuko n’awalala nga bano baddira ettaka lyabwe ate abantu abamu nebagenda okulyewangamyako mu biseera ate okukola omulimu guno wegutandikidde.
Mukwogerezeganyaamu naffe, Bwanika agamba nti ku busente obutono bwebafuna okukola enguudo zino tekuliiko zaakuliyirira bantu.
Wabula Bwanika awadde amagezi nti abantu abamu abamala geewaanngamya bwebatyo , enkola eno eyinza obutakkirizika mu nkola yenguudo era agamba nti enguudo eziwerako zigenda kukolebwa n’omwaka ogujja .