Ssentebe w’akakiiko ka EC ne banne bavudde mu offiisi oluvannyuma lw’ekisanja kyabwe okuggwako

Ssentebe w’Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda Omulamuzi Simon Byabakama wamu n’akakiiko ke bavudde mu offiisi oluvannyuma lw’ekisanja kyabwe okuggwako nga kati balindiridde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okulaba oba ng’abongera ekisanja.
Omwogezi wa EC Paul Bukenya akakasizza kino wabula nategeeza nti Bannayuganda tebasaanye kweralikirira nti emirimu kya EC gyakuzingama kuba balina Technical Team egenda okusigala ngetambuza emirimu.
Abatudde; Hajjat Aisha M. Lubega Basajjanaku, Deputy Chairperson (Kkono), n’Omulamuzi Byabakama M. Simon, Ssentebe (Ddyo). Abayimiridde, okuva ku kkono okudda ku ddyo: Mrs. Justine Ahabwe Mugabi, Hon. Stephen Tashobya, Ms. Nathaline Etomaru, Al-Haji Sebaggala M. Kigozi, ne Mr. Emorut James Peter.
Leave a Reply