Ssentebe w’e Mubende agobye omukiise ku lukiiko lwa bulogo

Ssentebe wa LC 5 owa Disitulikiti y’e Mubende Francis Kibuuka Amooti, agobye Secretary Production, Marketing, Natural Resources and Commercial Services, Achilles Kisaakye Ssenyonjo ng’amulanga obulogo, okulemererwa okutuukiriza emirimu wamu n’okulemwa okukwatagana ne banne ekizingamizza emirimu gya Disitulikiti. Okuyimiriza Kisaakye kidiridde Kisaakye okuvaayo nga 29-March-2019 n’alangirira nga bwagenda okwesimba ku mukama we mu 2021 ku bwa Ssentebe bwa Disitulikiti.
Amooti agamba nti; “Nakulonda ku lukiiko lwange olukulembeze nga ndowooza nti ojja kunyambako okutuusa obuweereza obutuukiridde eri abantu b’e Mubende, wabula kikwasa enaku nti nsobodde okwerabirako n’amaaso gange ensonbi ezikoleddwa mu offiisi yo. Wadde nga mbadde nkuwa ekitiibwa ng’omuntu era nga nkwagaliza ggwe ng’omuntu wamu n’abantu b’okiikirira wabula ate ggwe obadde tonjagaliza kyekimu. Ontulugunyizza buteerevu n’oluusi mu bwongo nga oyita mu bikolwa wamu n’okunzanyira ku bwongo. Nkujjukiza bwenasanga ebyawongo nga biyiiriddwa mu motoka yange naye tolina kyewayogera bwenakugambako newegaana so nga ggwe wali otudde mu motoka yange wekka. Tugezezaako nnyo okwogerako naawe nga tusuubira nti onakyuusa wabula wefudde nampulira zzibi nga olaga nti buli omu omusinga n’abo abakukulira.”
Amooti agamba nti Ssenyonjo alina sitampu gyeyekolera nga teyebuuzizza ku ssentebe.
Wabula ye Ssenyonjo byonna ebimwogerwako abyegaana, nga agamba nti mukama we yakozeseza busungu olw’okuba agenda kumwesimbako. Ono agamba nti Amooti bwaba agamba nti muanfu tatuukiriza mirimu gye, nti naye bwamulaba nga ssentebe wa Disitulikiti era kyeyava asalawo okumwesimbako mu 2021.
Mw. Fred Balongo Bikwalira, Kansala akiikirira e Gombolola y’e Madudu ye yalondeddwa okudda mu kifo kya Ssenyonjo.

Leave a Reply