Poliisi ekutte abagambibwa okutta Maneja w’essundiro ly’amafuta e Bweyogerere
23 — 10Ekyokukiriza emisango tekibasonyiyisa mugende mwebakeyo emyezi 3 – Brig. Gen. Robert Freeman Mugabe
23 — 10Bannabulemeezi balabuddwa okukomya okumala gagulaagula ddagala buli webasanze ate nebabasaba okugendanga mu malwaliro ga Gavumenti bakeberebwe olwo balyoke bafune eddagala ettuufu erisobola okukola ku bulwadde obubeera buzuuliddwa.
Okulabula kuno kukoleddwa Minisita wa Kampala omubeezi Kabuye Kyofatogabye bwabadde akwasa abakulira Eddwaliro lya Butalangu Health Centre III ne Wakyato Health Centre III nga gano gasangibwa mu Disitulikiti y’e Nakaseke ebintu ebibaweereddwa bbanka ya Stanbic okubadde; maama kit, enkampa, Fridge etereka eddagala, ebyuuma ebipima pressure, sukaali, minzani, ebyuuma ebikebera amaaso nebirala nga bino bibalirirwamu obukadde 25 mu emitwalo 30.
Okusinziira ku bakungu okuva mu Stanbic Bank, enkola eno bagituumye Corporate Social Investment era yakubumbugira ddala okutuusa omwezi gwe kkumi lwe gunaggwako mu nkola gyebayita “Love October Initiative”.
Bya Lwanga Musa e Luweero