State House yetaaga obuwumbi 57 okukola ku byetaago

State House yetaaga ensimbi obuwumbi 57.14 nga zino zakugula byuuma byabukuumi ebiri ku mutindo, ebikozesebwa mu maka g’omukulembeze w’eggwanga wamu ne motoka za Pulezidenti. Wabula obuwumbi 21.722 zezateekeddwa mu mbalirira y’Eggwanga eyomwaka gw’ebyensimbi 2024/25.

Ku buwumbi 57, State House bweyetaaga kuliko obuwumbi 14.401 nga buno bwakugenda mu maaso n’okudaabiriza State House Entebe, obulala obuwumbi 13.468 bwakugula byuuma ebiri ku mulembe ebikozesebwa mu byokwerinda n’obukuumi. Obuwumbi 6.549 zakugula motoka za Pulezidenti ate endala obuwumbi 8 zantambula ze okugenda emitala w’amayanja.

Leave a Reply