Taata avumbise omwana we owe myaka 6 mu muliro nga amulanga kubeera nanvunza.
Bino bibadde ku kyalo Kisojo, mu muluka gw’ e Kalonga mu gombolola ye Kitenga e Mubende.
Nzeyimana Ben ow’emyaka 37 y’avumbise mutabani we Muwanguzi Allan ow’emyaka 6 mu Kyoto oluvanyuma lw’o kumusanga n’envunza mu bigere n’oluvannyuma nafumba namazzi agookya n’amutuuzaamu.
Kamukama Robinah ono nga y’akulira essomero lya Mirembe Agape Primary school omwana ono gyasomera mu kibiina ekisooka ategeezezza nti agenze okulaba nga omwana ono atambula abeteggera bwatyo kwekumukebera ebigere byasanze nga bijjudde amabwa era nga ono tasobola na kutuula olwe biwundu ebiri ne kukabina.
Kino kiggye mu mbeera abatuuze mu kitundu nebatuuka n’okwagala okugajambula omutuuze ono nga police yo mukyenda yeemutaasizza.