Haji Mohamood Mirundi, abadde taata wa Loodi Meeya, Erias Lukwago, yafudde olunaku lwa ggyo oluvannyuma lw’okutawaanyizibwa obulwadde bwa polositeti kkansa era aziikiddwa olwa leero mu makaage e Kabungo, Kalungu, Buddu.
Ku mukolo ogw’okuziika, Obwakabaka bukiikiriddwa Oweek. Noah Kiyimba, Minisita w’Olukiiko; Amawulire; Abagenyi era Omwogezi w’Obwakabaka, ku lw’Omumyuka wa Katikkiro Asooka, Owek. Prof. Twaha Kaawaase.
Mu bubaka Owek. Kiyimba bwe yeetisse, Obwakabaka busaasidde nnyo ab’ennyumba y’Omugenzi olw’okuviibwako taata asobodde okugunjula abaana nga mwotwalidde Loodi Meeya ow’omugaso eri Obwakabaka, eddiini, n’eggwanga lyonna okutwaliza awamu.
Asabye abasigaddewo okutwala mu maaso ebirungi omugenzi by’abadde yettanira ennyo ate¹ n’okukuuma erinnya lye.
Jjajja w’Obusiraamu Omulangira Mbuga Kasim Nakibinge asiimye nnyo omugenzi olw’okubeera omwesimbu n’atava ku mulamwa ate nga yakola kinene nnyo okusasaanya eddiini y’Obusiraamu mu ngeri ezitali zimu.
Omulangira ye nnyamidde olw’abantu abatanywerera mu ku mulamwa, ekibaviirako okubuusibwabuusibwa awatuufu we bagwa ku nsonga ez’enjawulo.
Supreme Mufti, Sheikh Muhammad Shaban Galabuzi, asabye bannabyabufuzi okunywerera ku bigambo byabwe; babe b’amazima n’okubaamu ensa abantu basobole okubeesiga kitaase n’eggwanga ku mirerembe egiwerako.
Loodi Meeya, Erias Lukwago, agambye nti kitaabwe yafuba okubaweerera era baasoma ne bafuuka abantu ab’obuvunaanyizibwa mu ggwanga. Agasseko nti Hajji. Mirundi yabayigiriza okukola era yabasasulanga nga abatumye emirimu egivaamu ensimbi. Omugenzi alese bannamwandu; abaana, n’abazzukulu ku mitendera egy’enjawulo.