Uganda erina okusasula obuwumbi 112 eri CAF – Minisita Ogwang
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku by’emizannyo Peter Ogwang MP avuddeyo nategeeza nti Uganda erina okutuukiriza obukwakulizzo 6 nga tenakirizibwa kutegeka mpaka za AFCON 2027 nga buno kuliko n’okusasula obukadde bwa ddoola 30 bwebuwumbi 112 ebisale byokutegeka eri Confederation of African Football (CAF) ng’omwezi gwa February 2025 tegunatuuka.
Magogo ne banne baniriziddwa mu mizira
Omukulembeze ekibiina ekifuga omupiira ogw’ebigere mu ggwanga ki Federation of Uganda Football Associations (FUFA), Eng. Moses Magogo, Ssentebe w’akakiiko akatwala eby’emizannyo mu Ggwanga, Ambrose Tashoobya, Ssaabawandiisi w’akakiiko kano, Dr. Ogwel Benard Patrick baaniriziddwa mu mizira ku kisaawe Entebbe bwebabadde bava ku mu kibuga Cairo mu ggwanga lya Misiri ewakubiddwa akalulu Uganda mweyatuukidde ku kkula ly’okutegeka […]
Uganda eyagala kutegeka ne Kenya wamu ne Tanzania AFCON 2027
Olunaku olwaleero abakungu okuva mu Kibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) nga bakulemeddwamu FUFA Pulezidenti Eng. Moses Magogo, bano bakulembeddwamu omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa, Minisita w’ebyemizannyo Ogwanga Ogwanga basisinkanye Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni wamu ne Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Kataaha Museveni mu State House Entebe okubayitiramu mu […]