Okudda kwa Kyagulanyi kwalina makulu ki? – Gen. Muhoozi

Ani atategedde bubaka ku bonna? Kenzo agamba bbo tebasabiriza

Eddy Kenzo; “Wabula abafere muli bazibu Abatuyita ba beggars, bafulumila mu government budget every year, ate bafuna noomusaala monthly ela tebazigaanangako. Lwaki temuzigabila amalwaliro oba amasomero. Enyindo bwojinyigiriza enyo!! Banange mutuleke tulwanirire omulimu gwafe other wise tugenda yingira mu Politics’s wamwe direct. Mutuleke tutereze music omulimu mwagwonoona because mwaguyingizaamu eby’obufuzi fenna tunalya ku Politics? Mwe […]

Munnakibiina kya NUP abuziddwawo

Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nategeeza nga akulira ebigenda ku mutimbagano mu Kibiina kya NUP Swaburah Ow’omukisa bweyawambiddwa abasajja ababadde babagalidde emigemerawala olunaku lw’eggulo mu ttuntu okuliraana amaka ge nga negyebuli eno tanamanyikako mayitire.

Bobi Wine bwotalabikako mu Kakiiko tugenda kugoba okwemulugunya kwo – Mariam Wangadya

Ssentebe w’Akakiiko akalera eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission Wangadya Mariam avuddeyo nategeeza bga bwagenda okugoba okwemulugunya kwa Pulezidenti wa National Unity Platform Robert Kyagulangyi Ssentamu aka Bobi Wine. Kyagulanyi abadde alina okulabikako mu Kakiiko kano olunaku olwaleero wabula talabiseeko okuwa obujulizi ku musango gweyatwalayo ngawakanya ekya Poliisi okuyimiriza ebivvulu bye. Kyagulanyi asindise Bannamateeka […]

Abavubuka musaanye mubeere n’omulamwa – H.E Bobi Wine

Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ategeezezza nti buli mujiji gusaanye okuzuula omulamwa gwagwo era bafube nnyo okulaba nti baguteeka mu nkola. Okwogera bino Kyagulanyi abadde ku kitebe ky’ekibiina e Makerere, Kavule mu lukuŋŋaana lw’Abavubuka okuva mu bitundu eby’enjawulo.

Bobi Young ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti

Kkooti y’eggye lya UPDF etuula e Makindye olunaku olwaleero eyimbudde Agaba Anthony aka BOBI YOUNG ku kakalu ka kakadde kamu akobuliwo. Ono avunaanibwa omusango gwokusasaanya amawulire ag’obulabe.

Abawagizi ba NUP 28 batabukidde mu Kkooti y’amaggye

Abawagizi b’ekibiina kya National Unity Platform 28 abatanayimbulwa olunaku lw’eggulo bavudde mu mbeera mu Kkooti y’Amaggye oluvannyuma lwa Kkooti okubaggulako omusango omulala ogw’okulya mu nsi yaabwe olukwe, bano Kkooti yalagidde baddizibweyo ku alimanda wabula nga teraze ddi lwebagenda kutandika kuwozesebwa.

NUP ekoze enongosereza mu Ssemateeka waayo

Ekibiina kya National Unity Platform – NUP kikoze enongosereza mu Ssemateeka waakyo okuteekawo ekkomo ku bisanja omuntu byalina okukomako ku kifo ky’Omubaka wa Palamenti wamu n’Abakulembeze abalala mu kibiina ku bisanja 2 eby’emyaka 5 buli kimu nga kitandika kisanja ekijja. Enongosereza eno yakukola ne ku Pulezidenti w’ekibiina, Secretary General n’abalala. Wabula kino tekikola ku muntu […]

Olutalo lw’okununula Yuganda lwa ffenna – Bobi Wine

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine; “Luno olutalo lw’okwenunula lwetulimu si lwange nzekka, era kiba kyabwewussa oli okuvaayo nagamba nti lulwe yekka. Ekisinga obukulu, nzikiriza nti amaanyi gaffe gali mukukwatira wamu ffenna atwali kwekutulamu. Tuli b’amaanyi nnyo nga tukwatidde wamu era tebasobola kutuwangula.”