Mukwenda omuggya n’abamyuuka be batuuziddwa

Katikkiro n’abakungu abalala batuuse mu Seattle

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Twatuuse bulungi e Seattle, gye tugenda okusisinkanira abantu ba Beene abakuŋŋaanye okwetaba mu lukuŋŋaana lwa Buganda Bumu North American Convention, nga ku mulundi guno, tuzze okwaŋŋanga ekizibu ky’ebbula ly’Amazzi amayonjo mu Buganda.”

Sirina lwenja kuvaayo kwogera ku bulamu bwa Kabaka – Katikkiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Siri musawo era si nze muntu alina okujanjaba Kabaka naye kyensobola okubakakasa nti buli Kabaka bwalwala afuna obujanjabi obwekikugu okuva mu basawo abasinga. Obulamu bwomuntu kiba kyaama kye era sirina lwenja kuvaayo okwogera ku byobulamu bwa Kabaka.” #KatikkiroMayigaAt10

Katikkiro awazezza emyaka 10 ngaweereza Obuganda

Emyaka 10 Katikkiro Charles Peter Mayiga gyamaze ngaweereza Obuganda; “Ensimbi eziyingizibwa mu Ggwanika lya Buganda zeeyongedde. Ettoffaali ly’avaamu obuwumbi 9 ne zikola bbugwe w’Amasiro g’e Kasubi ne Muzibaazaalampanga anaatera okuggwa. Oluwalo olwakavaamu nga obuwumbi 2. 2. Embalirira y’Obwakabaka erinnye n’etuuka ku bitundu 45%. Embalirira y’Obwakabaka erinnye n’etuuka ku bitundu 45%. Entambuza y’ebyensimbi etereezeddwa nga kati […]