Poliisi etubidde n’ebintu by’abantu abaggwa mu nnyanja
Poliisi e Mukono nabuli kati ekyatubidde n’ebimu ku bintu bya bantu abaafiira ku lyato abateeberezebwa okubeera 32 n’okusoba Okusinziira ku a kulira okutereka ebizibiti ku poliisi e Mukono Afande Noah Ramathan ategeezezza Bukedde nti nabuli kati bakyalina mu sitoowa yabwe ebintu bingi omuli zi kaadi ez’enjawulo okuli zi driving permit, ennanga muntu, kaadi za bank […]
Poliisi e Mukono ekutte omukazi lwakubba mwana
Poliisi e Mukono ekutte omuwala ow’emyaka 19 ku bigambibwa nti yabadde mulukwe lw’okubba omwana ow’emyezi 10 nga bamubye ku Maama we mu Kikooza e Mukono. Ono abadde akola nga mukozi mu maka ga Olivia Nakabuye nga abadde yakakola enaku 3 mu maka gano. Poliisi yakoze okunoonyereza n’ekwata Olivia Nandoyi nebamukwatira e Rwakaka ku boarder ya […]
Asse mukazi we n’adduka – Mukono
Police mu Disitulikiti y'e Mukono eri ku muyiggo gwa musajja agambibwa okukkira mukyala we n'amumiza omusu n'assaako kakokola tondeka nnyuma okuva ku kyalo Bugoba – Sseeta ekisangibwa mu Munisipaali y'e Mukono. Omusajja ono ategeerekeseeko lya Lubwama nga yakazibwako lya Musiraamu y'akkidde mukyala we Lydia Nabukeera myaka 26 n'amuserengesa ekalannamo. Police n'abatuuze mu kitundu kino bakyasobeddwa […]
Ssemaka akaabidde ku Police lwa mwana
Ssemaka akaabidde ku Police e Mukono oluvannyuma lw'eyali mukazi we okukamutema nga omwana gwe yamulekera nga wa myaka ebiri nti ssi yekitaawe n'asalawo okumugabira omusajja omulala gwe baayagalana naye nga bakyali mu ssomero. Ibrahim Musisi nga mutunzi wa ngatto mu kibuga Mukono era nga mutuuze ku kyalo Butebe y'akabidde amaziga ku poliisi e Mukono oluvanyuma […]
Asangiddwa ku bbajjiro lye ng’attiddwa – Katosi
Entiisa ebuutikidde abatuuze enkya ya leero ku mwalo gw'e Nabulugo e Katosi mu ggombolola y'e Ntenjeru ekisangibwa mu Disitulikiti y'e Mukono oluvannyuma lw'okusanga mutuuze munnaabwe Steven Ssemwogerere ng'attiddwa. Omulambo gwa Ssemwogerere gusangiddwa mu kitaba ky'omusaayi enkya ya leero ku mwalo okuliraana ebbajjiro lye w'abadde awenjeza ekigulira magala eddiba . Akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango e Mukono, OC […]
Minisita Nadduli asimattuse okugajambulwa abavubuka e Mukono
Minisita owa guno naguli Hajji Abdul Nadduli asimattuse okugajambulwa abakulembeze b'ekibiina kya NRM abaayitiddwa okuva mu Disitulikiti y'e Mukono yonna oluvannyuma lw'okubasuubiza okubawa ensako ey'e mitwalo esatu esatu zebagambye nti ntono nnyo era nga tezibamala, batanudde okuwogganira waggulu ekiwalirizza ssentebe w'e kibiina mu Disitulikiti Hajji Ssebagala Twahili okuyita Nadduli annyonnyole abantu bano ekituufu. Wabula Nadduli olukute akazindaalo avumye buvumi bakulembeze bano omubadde ba […]
Ssaabalabirizi Ntagali agugumbudde Gavumenti ku misolo
Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Yuganda, The Right Rev. Stanely Ntagali era nga y’akulira olukiiko olukulu olwa Uganda Christian University e Mukono agugumbudde Gavumenti olw’okuwanika emisolo gyeggya ku matendekero g’obwannannyini naye ate nga amatendekero gano gaba gatuusa empeereza yaago eri Bannayuganda nga era aga Gavumenti bwegakola. Ssaabalabirizi okwogera bino abadde ki mukolo gw’okutikkira abayizi abaweredde ddala 1136 […]
Asibiddwa emyaka 30 lwakusaddaaka mukulu we afune obugagga
Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono Margaret Mutonyi aliko omuvubuka gwasindise mu nkomyo e Luzira akulunguleyo emyaka 30 oluvannyuma lw’omusango gw’okusaddaaka mukulu we afune obugagga okumukka mu vvi. Abdul Kawere ow’emyaka 19 omutuuze mu ggombolola y’e Busukuma mu Disitulikiti y’e Wakiso ng’akola gwa lejjalejja y’akaligiddwa ku kibonerezo ekyo. Oluuyi oluwaabi nga lukulembeddwamu omuwaabi wa Gavumenti […]
Ab’eddiini ya Tondazim beewera kufaafaagana na Maama Fiina
Abasamize abegattira mu diini eya TONDAZIM baweze okufaafaagana ne Maama Fiina singa tabaviira ku ddiini yaabwe. Bano bagamba nti eddiini yaabwe eriwo mu mateeka era yensonga lwaki ne Pulezidenti Museveni yabagulira ettaka e Mukono ku kyalo Ttakajunge ku lw’e Bugerere. Omukulu w’eddiini eno mu Yuganda Mudhungu Kisegese Tekiriibwansolo agambye nti tebayinza kukkiriza muntu ataliiko mmandwa kubakulembera. […]