Embeera y’omubaka Nambooze yeeraliikiriza
Embeera y’omumyuka wa Pulezidenti wa DP mu masekkati g’eggwaga ate nga ye mubaka wa Municipaali ey’e Mukono mu Palamenti, Betty Nambooze Bakireke, yeeyongedde okubeera embi. Mu kafubo kaabaddemu ne Luboggola Simba , omwogezi wa DP mu kibuga Mukono era nga ye muyambi w’omubaka Nambooze, Robert Namugera Kakeeto asangibwa mu ddwaliro lya City Medicals e Mukono, […]
4 bafiiridde mu nnyanja, 2 basimattuse – Katosi
Abantu bana bagudde mu nnyanja Nalubaale nebafiiramu nga kino kivudde ku lyato mwebabadde basaabalira okulemererwa nelibayiwa mu nnyanja bwebabadde bagenda okuziika munnabwe ku kyalo Mitala ekisangibwa okuliraana omwalo gw’e Katosi mu Disitulikiti y’e Mukono. Abantu bano babadde bava ku mwalo gw’e Bunankanda nga boolekera ku gw’e Katosi balyoke bagende ku kyalo gyebabadde bagenda okuziika munnaabwe […]
2 Police ebayodde ku bubbi bw’emmotoka – Mukono
Police e Mukono egombyemu obwala abasajja babiri abalina akakwate ku mmotoka eyabbiddwa ku nannyini kampuni ya Devine ekola ekyokunywa eky’akasera. Ssuuna Precious yakubiddwa bubi nnyo kumpi kukoma ku mugo gwa ntaana abantu abatannategeerekeka abaamulumbye mu makaage e Goma agali mu Municipaali y’e Mukono era nebakunta n’emmotoka ye kika kya Noah. Ayogerera Police mu bitundu bya […]
Akubye Mukaziwe omusekuzo n’amutta – Mukono
Musajja mukulu e Mukono atirimbudde mukyalawe bw’amukubye omusekuzo ku mutwe n’amutta lwakumuteebebereza kuba nga aliko mulirwana waabwe gw’ateetera naye . Jonah Kagula nga mutuuze ku kyalo Kavule ekisangibwa mu ggombolola y’e Nakisunga mu Disitulikiti y’e Mukono kigambibwa nti yafunye obutakkaanya ne mukyala oluvannyuma lw’okukizuula nti mulirwana yamuwadde ku nnyaanya zeyabadde akungudde mu nnimiro ye. Balirwana […]