Kibirige Edward ye Ssengule 2023

Musisi Bbosa Nseregganyi y’e Ssengule wa Radio Simba 2022

Musisi Bbosa Nseregganyi ey’eddira Endiga ye Ssengule wa Radio Simba omwaka 2022 n’Endukusa ye Kawooya Kelvin y’Endukusa esinze endala zonna okukungaanya obubonero obungi ku mpaka ezakamalirizo e Lugogo. Bbosa yewandulidde ensimbi okuva mu Radio Simba ne KCB Bank Uganda, Solar gagadde okuva mu DT Solar, Ettaka n’ekyapa okuva mu Century Properties Limited, ye Kelvin yewangulidde […]

Enyumba y’Engule eyolekedde Mombasa

Bannakoodikoodi nga banyumirwa obulamu mu kkuumiro ly’entugga lye bayita “Giraffe Centre” eriri mu kibuga Nairobi. Enkya ya leero boolekera Mombosa nga bagenda kutambulira mu “Standard Gauge Railway.”

Ennyumba y’Engule eri mu Ggwanga lya Kenya

Abakontanyi abatuuse ku mpaka ezakamalirizo okuli; Musisi Bbosa Nseregganyi (Ndiga), Nampyangule Kisirisaafumba (Lugave) ne Ssempijja Nyasio Njakabwasi (Nte) bali mu lugendo lwa Kkoodi Kkoodi mu Ggwanga lya Kenya. Balindirire e Lugogo nga 4-December-2022.