Enyumba y’Engule eyolekedde Mombasa

Ennyumba y’Engule eri mu Ggwanga lya Kenya

Abakontanyi abatuuse ku mpaka ezakamalirizo okuli; Musisi Bbosa Nseregganyi (Ndiga), Nampyangule Kisirisaafumba (Lugave) ne Ssempijja Nyasio Njakabwasi (Nte) bali mu lugendo lwa Kkoodi Kkoodi mu Ggwanga lya Kenya. Balindirire e Lugogo nga 4-December-2022.

Radio Simba eddizza abawuliriza baayo

Radio Simba n’omutima gwayo omugabi ekyagenda mu maaso nokuddiza abawuliriza baayo. Noolwaleero ewadde abawuliriza baayo ebintu ebikozesebwa mu masomero omuli hamper ya Movit Products, emifaliso gya Vita foam, eddagala lyamannyo erya Stardent, ebitaala bya Solar okuva mu DT Solar, ebitabo okuva mu Namanve Industries n’ebirala bingi.