FUFA etongozza omupiira omutongole ‘Zakayo’

Empaka za Mulimamayuuni cup zakomekerezeddwa

Empaka za Mulimamayuuni Cup ezategekebwa Omubaka akiikirira Mukono County North Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Abdallah mu kaweefube w’okukulaakulanya ebitone kyakomekerezeddwa nga buli ttiimu eyetabyeemu yaweereddwa omujoozi n’emipiira, ttiimu eyawangudde yetwalidde ente. Mu ngeri yemu era Omubaka Ono yaduukiridde abavubuka abavuga booda booda nga bakola ebibiina byabwe mwebatereka ssente, yabawadde piki piki piki empya. […]

Harry Maguire akirizza okwetonda kwa MP w’e Ghana

Omubaka wa Palamenti ow’Eggwanga lya Ghanan Isaac Adongo eyavaayo nageraageranya Minisita ku muzibizi wa Manchester United Harry Maguire eyali asamba obubi omwaka oguwedde yavuddeyo namwetondera era namuwaana olw’ensamba ennungi gyayolesa kati. Maguire akirizza okwetonda kwe nategeeza nti amwesunga okumulabako ku Old Trafford.

Kitalo! Darius Mugoya afudde

Kitalo! Omumyuuka w’omukulembeze w’ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) Darius Mugoya afudde enkya yaleero. Ono afiiridde mu Ddwaliro e Mengo.

Ssimbwa ye mumyuuka w’omutendesi wa Uganda Cranes omuggya

Omutendesi wa Uganda Cranes omuggya Put Paul Joseph alonze Sam Ssimbwa ngomumyuuka we. Ekitongole ekitwala omupiira ogwebigere mu Ggwanga ekya FUFA kikiriziganyizza naye era Ssimbwa atandikiddewo emirimu gye. Abanamuyambako abalala bakulangirirwa oluvannyuma.  

Omusambi wa New Castle akaligiddwa emyezi 10 nga tasamba mupiira lwakusiba kapapula

Omuzannyi wa ttiimu ya Newcastle munnansi wa Italy, Sandro Tonali akaligiddwa emyezi 10 nga teyeetaba mu muzannyo gwa mupiira oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okusiba akapapula. Tonali yakwatibwa wiiki ewedde bweyali agenze okwegatta ku ggwanga lye nga bagenda okuzannya emipiira gy’okusunsulamu abaneetaba mu mpaka z’ekikopo ky’amawanga ga Bulaaya omwaka oguggya.

Greenwood agenda kwabulira Manchester United

Kkiraabu ya Manchester United evuddeyo netegeeza nga omusambi Mason Greenwood bwagenda okwabulira kkiraabu eno oluvannyuma kwokutuuka kunzikiriziganya. Man U egamba nti oluvannyuma lwokukola okunoonyereza bakizudde nti ebyo ebyateekebwa ku mutimbagano tebyoleka bulungi kyaliwo wabula yadde ngebyo biri bityo Mason asanze akaseera akazibu okuddamu okusamba omupiira ku Old Trafford.

Uganda eyagala kutegeka ne Kenya wamu ne Tanzania AFCON 2027

Olunaku olwaleero abakungu okuva mu Kibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) nga bakulemeddwamu FUFA Pulezidenti Eng. Moses Magogo, bano bakulembeddwamu omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa, Minisita w’ebyemizannyo Ogwanga Ogwanga basisinkanye Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni wamu ne Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Kataaha Museveni mu State House Entebe okubayitiramu mu […]

Ssaabasajja aguddewo empaka z’Ebika bya Buganda 2023

Emizira n’enduulu bibuutikidde ekisaawe kya Muteesa II e Wankulukuku Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwasiimye nalabikako eri Obuganda okuggulawo empaka z’omupiira gw’Ebika bya Buganda eza #bika2023.

Empaka z’Ebika bya Buganda zitandika lwaleero

Olunaku olwaleero empaka z’Ebika lwesitandika era nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda okugiggulawo mu Mutessa II Stadium e Wankulukuku. Ekika kye Nkima be Ngabi e Nsamba byebiggulawo mu mupiira ogw’ebigere n’okubaka. Katikkiro Charles Peter Mayiga yatuuse dda mu Kisaawe. #BikaCup2023 #KabakaWange