Don Nasser aziddwayo e Luzira
Omuvubuka omwegyaasi w’omu Kampala amanyiddwa ennyo nga Don Nasser akomezeddwawo mu Kkooti enkya yaleero era oludda oluwaabi nerutegeeza nga bwerumaze okukola okunoonyereza ku musango gwokukusa abantu. Oludda oluwaabi lusabye ono asindikibwe mu Kkooti Enkulu atandike okuvunaanibwa nga 25-November terunayita. Ono aziddwayo ku alimanda ate ye munne nayimbulwa oluvannyuma lwokukirizibwa okweyimirirwa Kkooti ya International Crimes Division. […]
Bobi Wine alidde matereke ne Wangadya
Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine: “Okwemulugunya kuno nakuteekayo emyaka 5 egiyise. Ssentebe ne bammemba Akakiiko kano Ssemateeka akawa obuyinza okukuuma n’okulera eddembe lyobuntu wabula ate kalinyirira lirinyirire. Ssentebe w’Akakiiko akalera eddembe lyobuntu aka Uganda Human Rights Commission – UHRC Mariam Wangadya; “Ssebo bwekiba nti ekyo kyoyogedde kuba kulumbagana Kakiiko. Oli waddembe okuggyayo okwemulugunya kwo. […]
Gravity eyawemulira mu luyimba lwa Taata tolina kwogera – Kafeero Swars
Luno lunaggwa!? Mutabani w’omugenzi Paul Job Kafeero avuddeyo nategeeza nti GRAVITTY OMUTUJJU yaddamu oluyimba lwa kitaabwe olwa Walumbe Zzaaya olwamufuula kyali wabula teyabawa yadde ekikumi nti era teyakoma kwekyo wabula nawemulira ne mu luyimba lwa kitaabwe ebitagambika naye bamuleka kuba balaba nga naye anoonya kuyitawo. Bano bongerako nti Bobi Wine yabanoonya bweyali addamu oluyimba lwa […]
Big Eye abuuza omusolo ogusasulwa Bannayuganda gyegulaga
Big Eye StarBoss avuddeyo; “Eggwanga lituuse mu mbeera nti kati Eddwaliro omuntu alina kulibanja muntu ssekinoomu eyakeera neyekolera ssente ze, sso ssi Gavumenti gyetuwa emisolo! Emisolo gyetuwa giraga wa?”
Kibedi Cox asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira
Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Ronald Kayizzi asindise blogger Kibedi Ronald Cox 48, ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa ku lwokutaano lwa wiiki eno lwokukola vidiyo ngavuma Maama ko ne muwala we. Ono avunaaniddwa emisango okuli Cyber Harassment wamu n’okutyoboola ekitiibwa ky’omukyala. Kigambibwa nti okuva omwaka gwa 2021 okutuusa nga 18-January-2024 Kibedi lweyakwatiddwa, […]
Alien Skin bamutwala mu Kkooti lwakugaana kuyimba e Mbarara – Balaam
#WOLOKOSO Balaam Barugahara Ateenyi avuddeyo ku mukutu gwe ogwa X nategeeza nga nnanyini kifo kya Deluxe Grill and Lounge e Mbarara bwalina enteekateeka ezitwala omuyimbi Alien skin ug mu mbuga zamateeka gabalamule oluvannyuma lwa Alien Skin okumenya endagaano yokuyimba mu kifo kino nga 28-October. Kigambibwa nti bano baagala Alien Skin aliwe obukadde 25 mu naku […]
Mubadde mwagala nkuumwe ani? – Alien Skin
#WOLOKOSO: AlienskinUg avuddeyo ku mukuumi we; “Ebifaananyi bya kanyama wange Julio, ebifaananyi bino bibaddewo era webiri. Mbu Kati bwoba wetaaga obukuumi olina kubufuna mu nsiko, mbadde nga mbagamba nti nina obukuumi obwamaanyi nga muwoza nti ntambula na babbi.”
Winnie Nwagi akubye omuwagizi amukutte ku bigere
Winnie Nwagi yavudde mu mbeera ku kivvulu e Masindi neyekandagga naava ku siteegi oluvannyuma lw’abawagizi okuva mu mbeera nebatandika okumukuba obuccupa. Kino kyaddiridde omuwagizi okugezaako okumukwatako bweyabasemberedde ngayimba ku kivvulu, Nwagi naava mu mbeera nayimiriza okuyimba olwo nabategeeza nti basaanye okumuwa ekitiibwa kuba ye si malaaya. Ono yatuuse n’okukuba omuwagizi omuzindaalo ku mukono.
Ani atategedde bubaka ku bonna? Kenzo agamba bbo tebasabiriza
Eddy Kenzo; “Wabula abafere muli bazibu Abatuyita ba beggars, bafulumila mu government budget every year, ate bafuna noomusaala monthly ela tebazigaanangako. Lwaki temuzigabila amalwaliro oba amasomero. Enyindo bwojinyigiriza enyo!! Banange mutuleke tulwanirire omulimu gwafe other wise tugenda yingira mu Politics’s wamwe direct. Mutuleke tutereze music omulimu mwagwonoona because mwaguyingizaamu eby’obufuzi fenna tunalya ku Politics? Mwe […]