Abitex asindikiddwa ku alimanda e Luzira
Omutegesi w’ebivvulu Abbey Musinguzi aka @Abitex Promotions asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti y’e Makindye amusindise ku alimanda okutuusa nga 10-Jan-2023 mu kkomera e Luzira olw’ekivvulu kyeyategeka nga 31-Dec-2022 ku Freedom City omwafiira Abantu 10.
Kitalo! Omuyimbi Tshala Muana afudde
Kitalo! Omuyimbi Munnansi wa Congo Élisabeth Tshala Muana Muidikay eyamanyibwa ennyo nga Tshala Muana afudde enkya yaleero ku myaka 64. Ono yazaalibwa nga 13 May 1958.
Oluyimba lwo genda olwekubire ewuwo – DJ agobye Big Eye ku siteegi ya Kenzo
#Wolokoso; Big Eye StarBoss bakannyama bamuwazewaze okumuggya ku siteegi mu Kivvulu kya Eddy Kenzo oluvannyuma lwokugezaako okukuba DJ eyagaanye okuddamu okuzannya oluyimba lwe omulundi ogwokubiri wabula nakubamu lwa DJ Micheal. Big Eye yavudde mu mbeera nga agamba nti ono yamulabisizza mu maaso gabawagizi be enkumi nenkumi. Yayongeddeko nti yateeka essente nnyingi n’obudde bwe mukukola oluyimba […]
Bobi Wine akyalidde ku mukadde gweyalaba mu katambi
Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Nakyalidde ku Jjajja Tausi Ssola ow’e Bulenga — Nakabugo. Emabegako awo nalaba akatambi ke ku Tik Tok nga Jjajja Tausi alaga nga bwatwagala ennyo nensalawo okumuddiza nga mukyalirako. Ampita ‘Bobu Line’.”
Poliisi egamba nti Sipapa yenyigira mu bubbi obulala 12
Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga ekitongole kya Poliisi ekikola kukunoonyereza ekya CID bwekizudde nga Charles Olimi aka Sipapa nti yenyigira mu misango emirala 12 egyobubbi oluvannyuma lwokumuggyako endagabutonde n’ebinkumu nebikwatagana nebyo ebyagibwa mu bifo webabba. Kino kitegeeza nti Sipapa yali omu ku bantu abenyigira mu bubbi mu bifo okuli; […]
Ekivvulu kya nyege nyege okusobola okubaawo abategesi tubawadde obukwakulizo – Minisita Akello
Hon. Akello Rose Lilly Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku byempisa avuddeyo nategeeza Palamenti nga bwebawadde abategesi ba Nyege nyege obukwakulizo obulina okutuukirizibwa ekivvulu kino okubaayo. ▶️ Abaana abali wansi w’emyaka 18 tebakirizibwa mu kivvulu kino. ▶️ Teri akirizibwa kubeera ku kivvulu kino ngali munkunamyo. ▶️ Teri muntu akirizibwa mu kivvulu kino nga waliwo ebitundu byomubiri […]
Poliisi ekutte Sipapa – SCP Fred Enanga
Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obuzigu ekya Directorate of Crime Intelligence bwekikutte Olimu Charles Sipapa, abadde anoonyezebwa ku bigambibwa nti yenyigidde mu bubbi mu maka ga Jacob Arok, e Kawuku-Bunga. Enteekateeka zigenda mu maaso okumukwasa CID mu Kampala Metropolitan Police, okwongera okumukunya n’oluvannyuma akwasibwe Kkooti.
Sipapa Poliisi emuyigga lwabubbi – SCP Fred Enanga
Bambega okuva ku kitebe kya Poliisi mu Kampala, bakoze okunoonyereza ku bubbi obwakoleddwa mu maka ga Munnansi wa Sudan Jacob Arok e Kawuku mu Bunga mu kiro kya 28-29 August 2022 era nebakwata abasuubira okwenyigira mu bubbi buno era nebaako nebintu byezudde. Kigambibwa nti ekibinja kyababbi bamenya nebayigira mu maka ga Arok nebabakuba kalifoomu nebabba […]
Cindy oli mubi nnyo ongoba otya ku siteegi – Rema K
Omuyimbi omuto Rema K avuddeyo nayambalira omuyimbi Cindy sanyu eyamugoba ku Siteegi ekiro ssaawa mukaaga nga agamba nti ono akyali mwana muto. Rema K agamba nti lwakiri yandimuzizza ebbali oba back stage naye mu bantu yalese amulengezza mu bawagizi be. Rema K nga muyizi ku Gombe Junior School, Cindy yamugobye ku siteegi nga agamba nti […]