Cindy agobye omwana omuto ku siteegi

Spice Diana jangu obitebye – Poliisi

Uganda Police Force e Katwe eyise omuyimbi Namukwaya Hajara aka Spice Diana ku bikwatagana n’okuttibwa kw’omuvubuka ow’emyaka 27 agambibwa okukubwa obubi ennyo naffira mu Ddwaliro e Mulago. Poliisi egamba nti nga 30-June-2022, Nsamba Henry yawalampa ekikomera kya ky’amaka ga Spice Diana nekigendererwa kyokubba, nakwatibwa era nakubwa nafiira mu Ddwaliro e Mulago oluvannyuma.

Bebe Cool alaajana, ‘kata bankube amasasi’

Bebe Cool; “Omusajja ono yabadde ayagala kunkuba masasi oluvannyuma lwokutomera emotoka yange. Twasobodde okumuggyako emmundu era nakwatibwa owa Poliisi. Oluvannyuma tamututte ku Poliisi e Ntinda era nebandagira nkole sitaatimenti. Bwenatuuse ku Poliisi, banne babadde batuuse dda nga basazeeko Poliisi y’e Ntinda nga batadde abasirikale ku mudumu gw’emmundu. Bandagidde okuva mu kifo ekyo mu bwangu era […]

Cephco eyavuma Full Figure agaaniddwa okweyimirirwa

Omuvubuka eyeyita Dr. Cephco amanyiddwa ennyo mukuvuma abantu ku mukutu gwa Tiktok agaaniddwa okweyimirirwa era nazzibwayo mu Kkomera e Kitalya. Ono yakwatibwa Uganda Police Force oluvannyuma lwa Jennifer Nakanguubi aka Jenifer Fullfigure okumuggulako omusango nti yamulebula saako n’okumuvuma.

Lwaki Sheebah osirika nga bampayira – Andrew Mwenda

Andrew M. Mwenda avuddeyo ku kya Sheebah okugamba nti waliwo eyali ayagala okumusobyako; “Kyewuunyisa omukyala ow’erinnya engeri gyayinza okuswazibwa n’okulumya mu kifo kyokuwaabira eyakikoze ku Uganda Police Force ate nadda ku Social Media, afunemu ki? Kumusaasira? Lwaki tagenda ku Poliisi ayambibwa oba mu Kkooti? Enkola yonna gyeyandigoberedde yandimuyambye okufuna okusaasirwa wamu n’obwenkanya mu mateeka. Akatambi […]

Mulekeraawo okumanyiira – Sheebah Karungi

Sheebah Karungi alina kyagamba; “Sifaayo ku ki kyemundowooleza bwemundaba ku siteegi oba Vidiyo olwenyambala yange, mulina okuwa omubiri gwange ekitiibwa. Ggwange, ndi waddembe okugukozesa kyenjagala. Naye ggwe tolina lukusa olwo.”

Sijja kugenda ku kabaga ka Gen. Muhoozi – Big Eye

#Wolokoso; Omuyimbi Big Eye StarBoss; “Sirina nsonga enetabya mu kabaga kamazaalibwa ga Gen. Muhoozi Kainerugaba kuba embeera eno embi gyempitamu kati tavangayo kunsaasira so nga byonna ebintuukako bizze lwakuba nwanirira Gavumenti eno ye gyannyumirwa. Omulimu ggwange gwaggwawo. Benyiizizza mu nsonyiwe. Naye mwebale kumpita.”

Kusaasira ali mu maziga, DPC agadde ekivvulu kye

Omuyimbi Catherine Kusasira Sserugga ali mu miranga oluvannyuma lwa DPC okuggalawo ekivvulu kye. Kusaasira alajanidde IGP ne DIGP wa Uganda Police Force okuvaayo mu bwangu bakole ku DPC Kamujebe, ono agamba nti bwoggalawo ekivvulu kya Catherine Kusasira oba nga agaddewo ekivvulu kya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni kuba ye wa National Resistance Movement – NRM. Ono […]

Abadigize bannyumiddwa Easter e Garuga

#Wolokoso; Ekibadde e Garuga mu Easter Cheeza abadigize bannyumiddwa empaka z’amaato, empaka za booda booda, Piki Piki wamu n’emotoka z’empaka. Duncan Mubiru KIKANKANE abalazeeko ekyuuma ekippya kyasabukuludde kyekisobola okukola.

Eyafulumya obutaabi bwa Martha Kaya agaaniddwa okweyimirirwa

Omusuubuzi w’omu Kampala Herbert Arinaitwe avunaanibwa okusaasanya ebifaananyi bya Martha Kay / Entertainer ebyobuseegu agaaniddwa okweyimirirwa Kkooti Enkulu mu Kampala. Ono yasaba Martha Kay ssente oluvannyuma lwokugwa ku ssimu ye eyalimu ebifaananyi bye ebyobuseego obutabifulumya, bwebatazimuwe nasalawo okubifulumya.