Bobi Wine agenze e Gulu okukubagiza

Omuyimbi Eezzy agudde mu bazigu nebamukuba

#Wolokoso; Omuyimbi Opoka Eric aka Eezzy Music Africa yagudde mu bazigu mu kiro ekikeesezza olwaleero  e Muyenga bwabadde ava ku kivvulu nebamuleka nga ataawa. Ono yeyakuyimbira ennyimba okuli Tumbiiza Sound olwakyaaka ennyo mu kiseera kyomuggalo nerutuuka nokuwerebwa Minisitule y’ebyobulamu ngegamba nti lwali lukuma omuliro mu bantu.

Kapa Cat emotoka ye bagikubidde e Bugiri

Omuyimbi Catherine Tumusiime, aka Kapa Cat, avuddeyo nategeeza nga bwagenda okukuba abategesi b’ekivvulu ekyabadde e Bugiri lwakukuma muliro mu badigize omuliro nebakuba emotoka ye nebagyonoona. Kapa Cat agamba nti ekivvulu kyayimirizibwa nga tanayimba oluvannyu lwabagize okutabuka. Kapa alumiriza omutegesi w’ebivvulu owa Munzun Events amanyiddwa nga Kim yagambye abantu nti Kapa Cat tanatuuka nebatabuka. Agamba nti […]

Ekivvulu kya Ruger ekyasaziddwamu kyaleero – Poliisi

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga ekivvulu kyomuyimbi Munnansi wa Nigeria Michael Adebayo Olayinka aka Ruger ekyasaziddwamu olunaku lweggulo olw’ekifo obutatuukiriza bukwakulizo bwabyakwerinda bwekigenda okubaayo olunaku olwaleero ku Ddungu Resort oluvannyuma lw’abategesi okugoberera ebiragiro byebokwerinda ebyateereddwawo Poliisi.

Happy Birthday Bobi Wine

Olwaleero mazaalibwa Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine. Tukwagaliza olunaku lw’amazaalibwa olulungi. Okubala 6:24-26; ““ ‘MUKAMA Katonda akuwe omukisa, akukuume; MUKAMA Katonda akwakize amaaso ge akukwatirwe ekisa; MUKAMA Katonda akwolekeze amaaso ge akuwe emirembe.”

Bobi Wine naye agenze okujjukira Mowzey Radio

Bobi Wine; “Mpiseeko e Kagga okujjukira ku muganda wange #MowzeyRadio. Giweze emyaka 4 okuva lwewatuva ku maaso naye lulinga lwajjo. Mbadde musanyufu okusanga Maama nga mugumu era musanyufu. Muganda wange Frank nebanyinaze bagumu. Ddala leediyo tezifa, zikyuusa mikutu. Wamula mirembe Radio. Tukyalwana n’ensi.”

NRM mwanfiriza buli kimu kati munsudde – Catherine Kusaasira

Omuyambi wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Catherine Kusasira Sserugga avuddeyo alaajana; “Nfiiriddwa buli kimu ekyange lwakibiina kyange ekya National Resistance Movement – NRM, obukuusa bungi mu NRM ng’ekibiina, okola nnyo newewaayo mu buli kimu okulaba nti ekibiina kibeera bulungi naye tosiimibwa. Nga neerekereza ebyange bingi mu kalulu akawedde, nentuuka nokwewola ssente mu bbanka ntandikewo pulojekiti […]

Banange Bannayugnada mu nsonyiwe – Judith Babirye

Eyaliko omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Buikwe Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Hon. Judith Babirye avuddeyo neyetondera oyo yenna gwayinza okuba nga yanyiiza, yetonda olw’obufumbo obwomulundi ogwokubiri bweyayingiramu nti teyandibuyingiddemu, yetondedde eggwanga Yuganda wamu n’abakirizza wamu nabo abamwagala, yetondedde abaana abato abamulaba nga ekyokulabirako, yetondedde omukyala Lukia Ntale olw’ensobi gyeyakola.

Omuyimbi General Defao afudde

Kitalo! Omuyimbi Munnansi wa Congo Lulendo Matumona aka Général Defao 62, afudde. Ono yabadde agenze mu Kibuga Douala gyeyabaddea alina ekivvulu, wabula ngebula ssaawa ntono nnyo ekivvulu kitandike, yatabukidde mu room mweyabadde gyeyagiddwa naddusibwa mu Ddwaliro lya Laquintinie gyeyafiiridde.

Mbaagaliza amazaalibwa ga Yesu Kristo amalungi n’omwaka omuggya ogw’emirembe – Hon. Kyagulanyi

Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine afulumizza obubaka obwagaliza abantu Ssekukkulu ennungi n’omwaka omugya ogw’emirembe. Hon. Kyagulanyi akulisizza abantu omwaka guno ogugenda okuggwako gwagambye nti gubadde gujjudde okusomooza omuli okuwamba kwossa okutta abawagizi baabwe.