Pr. Bugingo ne Makula Kkooti Entebe ebayise.

Black Skin yasindikiddwa e Luzira

Wolokoso; Omuyimbi era omuwandiisi w’ennyimba Frederick Ssenyonga aka Black Skin yasindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 9-Dec-2021. Ono yasindikiddwa ku alimanda ku bigambibwa nti yagezaako okwonoona erinnya lyomuntu, okulimba wamu n’okuwaayiriza. Okusinziira ku mukwano gwe Producer Eno Beats agamba nti obuzibu buva ku luyimba lwa Gyenvudde lwagamba nti yeyaluwandiika weyakolera akatambi kano; […]

Black Skin eyawandiika oluyimba lwa gyenvudde akwatiddwa

#Wolokoso; Producer Eno Beats avuddeyo nategeeza nga omuwandiise w’ennyimba Black Skin bweyakwatiddwa olunaku lw’eggulo ku ssaawa nga kumi ez’olweggulo nga ebyamukwasizza byekuusa ku byeyayogera mu katambi kano; https://youtu.be/n4sBPjDt8Io ku luyimba lwa Gyenvudde wiiki bbiri eziyise nga agamba nti Bebe Cool teyamusasula luyimba luno lweyawandiika. Bwatyo yagenda mu maaso nafulumya ne demo gyagamba nti yagikola emyaka […]

BANANGE MUNYAMBE – PALLASO

Omuyimbi Pallaso avuddeyo nasaba Bannayungada bamuduukirira bamusondere ku ssente obukadde 100 asobole okunnunula emotoka ye ekika kya Roger Rover ekitongole ekisolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) gyekyabowa olwokulemererwa okusasula omusolo gwayo.

Isma Olaxess olina okukwatibwa – Abtex

#Wolokoso; Omutegesi w’ebivvulu Abbey Musinguzi a.k.a Abtex promotions avuddeyo naggula omusango ku blogger Lubega Tusuubira Isma aka Isma Olaxess aka Isma Kalevu aka Jajja Iculi1 gwagamba nti yalabikira mu katambi nga akyeteekako nti yomu ku batemu abamiza Producer Danz Kumapeesa omukka omusu. Ono agututte ku CID e Kibuli. Ye Isma Olaxess yavuddeyo nategeeza nti tayogera […]

MPAGIRA OS SUUNA OKUSIBA BANNAMAWULIRE YADDE SIMWAGALA – BEBE COOL

#Wolokoso: Moses Ssali aka Bebe Cool avuddeyo ku kya Os Suna okutwala Bannamawulire Keyz, Brian Wako ne Makko ne blogger Isma Olaxess; “Ani mutuufu, era ngenda kuyimirira mbagambe nti yadde Ssuuna simwagala ng’omuntu kubanga nze alina ebintu byakola nenewuunya, naye Ssuuna MUTUUFU, ku lwobulungi bw’ekisaawe ky’okuyimba katugoberere amateeka, amateeka tugaleke gakole ku buli Munnayuganda. Olwokuba […]

BANANGE MUNSOYIWE ZAALI NTALO ZA FACEBOOK – ISMA OLAXESS

https://youtu.be/ACzem0WPXeI Tusuubira Isma aka Isma Olaxess aka Isma Kalevu aka Jajja Iculi1; “Mwasuze mutya Bannayuganda okwetoloola ensi yonna, njagala okutwala omukisa guno okumenywawo byonna ebirabikira mu katambi akatambuzibwa nga ngamba nti natta Dans Kumapeesa (RIP). Dans nali simumanyi ngomuntu era samusisinkanako nabwekityo nali simulinaku buzibu bwonna obwandindeetedde okumutta era njagala okubategeeza nti zino zaali ntalo […]

POLIISI EVEEYO EKWATE ISMA OLAXESS – ABTEX

#Wolokoso; https://youtu.be/bEBH3TUnXas Omutegesi w’ebivvulu Abbey Musinguzi aka Abtex promotions avuddeyo nategeeza nga bwawadde Uganda Police Force enaku 2 zokka nga ekutte Tusuubira Isma aka Isma Olaxess aka Jajja Iculi1 ngentabwe eva ku katambi akatambula ku social media nga kalaga mbu Isma yamanya ku kufa kwa Producer Dans Kumapeesa. Abtex agamba nti bwebatakwata Isma agenda kugenda […]

Isma Olaxess ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti

Tusuubira Isma aka Isma Olaxess aka Isma Kalevu aka Jajja Iculi1 ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 10 ezitali zabuliwo olunaku olwaleero. Ono avunaanibwa ne Bannamawulire Brian Wako, Keyz wamu ne Makko ku bigambibwa nti balebula omuyimbi Os Suna. https://youtu.be/vZ2bhrYT2S4

ISMA OLAXESS ASINDIKIDDWA MU KKOMERA E KITALYA

Tusuubira Isma aka Isma Olaxess aka Isma Kalevu aka Jajja Iculi1 asindikiddwa mu ku alimanda mu kkomera e Kitalya okutuusa olunaku olw’enkya bwenateekamu okusaba okweyimirirwa. Ono avunaanibwa okulebula omuyimbi Os Suna bwebaali ku TV ne Keyz, Brian Wakko wamu ne Makko abasindikibwa ku alimanda ku lunaku olwokutaano. https://youtu.be/vmYNeLlK7L4