Annie Nixon yetonze olw’ebifaananyi byobuseegu ebyafulumye
Producer wa NTV The Beat ne Dance Party Annie Nixon avuddeyo neyetondera ab’Oluganda lwe, bakamaabe, mikwano gye nabo abamwenyumirizaamu olw’ebifaananyi bye ebyobuseegu ebyafulumiziddwa. Mu kiwandiiko Ann kyafulumizza ku mukutu gwe ogwa Twitter agamba nti ebifaananyi bino byamukubibwa bbaawe Edgar Luvusi gwagamba nti bayawukana olwokumukubanga mu bufumbo ngabadde amutiisatiisa okumukomya mu bulamu.
Bobi Wine ne Nubian Li bagenda kukuba abali mu Amerika omuziki
Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Okutandika nessaawa ttaano ez’ekiro eze Yuganda (4pm Boston) olwaleero, nja kuggalawo mu butongole olukungaana lwa Bannayuganda abawangalira emitala w’amayanja oluyindira e Boston, USA n’okwogera okumpimpi oluvannyuma mbakube omuziki ku mutimbagano ne munange Nubian li. Temusubwa.”
Omuyimbi Ssekandi agudde ku kabenje
Agakagwawo! Omuyimbi wa Kadongokamu Angel Ssekandi ne Mukyala we Justine Ssekandi bafunye akabenje e Mbalala ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja.
Ibrahim Ssegawa (Vincent) ali mu nkomyo
Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekikola kukunoonyereza ku misango ekya CID Charles Twiine avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo abaana 50 abakuumirwa ku kitebe kya CID nga bano bali mukugibwako ebibakwatako n’oluvannyuma baddizibwe ab’enganda zaabwe. Bano kuliko nabantu abakulu abakwatibwa nabo nga mwemuli neyali omuyimbi wa Kadongokamu Vincent Ssegawa eyasiramuka nafuuka Ibrahim Ssegawa bagiddwa ku Markaz […]
Leero Bobi Wine ne Barbie bawezezza emyaka 10 mu bufumbo
#EbirwaByerabirwa: Bwerwali bweruti nga 27-8-2011 Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine ne Barbie Kyagulanyi nebakuba ebirayiro mu bufumbo obutukuvu. Barbie avuddeyo; “Taata, laba gyetuvudde. Osobola okukikirizza nti olwaleero giweze emyaka 10 nga tuli mu bufumbo obutukuvu, emyaka 20 mu mukwano ogwanamaddala? Yo! Obudde nga bwanguwa! Ndaba nga eyayimiridde ggyo ku siteegi ya National theater noyogera […]
Nze senkana bwentyo nsigawo – Lwasa
Omugagga Lwasa Emanuel Kaweesi avuuddeyo ku katambi akatambula neyewuunya abantu agamba nti ku ssente zalina tasobola kufaanana atyo nakugenda mu bifo bifaanana bityo. Afunye namuwolereza nga yeyali omubaka wa Lubaga South Kato Lubwaama nebatabuka; https://youtu.be/fjsJuYWENgA
Bannayuganda mukole temutamunyiira mukole – Kato Lubwama
Eyali omubaka wa Lubaga South Kato Lubwama Paul – Official avuddeyo nakudaalira Bannayuganda nti temwagala kukola temusobola nakulya bulungi so nga ye kati yeriira kukyennyanja. Nti kati ye n’omugagga Lwasa Emanuel Kaweesi beriira ku ssente zaabwe. Basekeredde Dianah Nabatanzi nti yali ayagala kufuga Lwasa nga mutabani we natuuka nokumweragirako nga yakakola emyaka 5 gyokka so […]
ENSONGA ZA LUMBUYE TUZOOGERAKO NE GAVUMENTI YA TURKEY
Minisita w’ensonga zebweru w’eggwanga Gen. Jejje Odongo avuddeyo nategeeza Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’Eggwanga nti enosnga za Fred lumbuye kajjubi bakyaziteesaako wakati waYuganda ne Interpol mu Turkey. https://youtu.be/_kFOWx9VK6c
Barbie aduukiridde abakyala n’abaana mu Disitulikiti y’e Luweero
Muky. Barbie Kyagulanyi adduukiridde Abakyala n’abaana abakazaalibwa n’ebintu ebikozesebwa mu Ddwaliro. Abadduukiriddwa beebo abasuulibwawo babbaabwe mu Disitulikiti ye Luweero. Barbie yegattiddwako Ababaka abava mu kitundu kye Luweero.