Minisita Nandutu atuusiddwa ku Kkooti e Kololo
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Agnes Nandutu aleeteddwa ku Kkooti evunaana abakenuzi n’abali b’enguzi enkya yaleero okusomerwa emisango egyamuguddwako egyekuusa ku mabaati g’e Karamoja. Wabula ono okwawukanako ku banne azze musanyufu era teyekwese Bannamawulire alabiddwako ngabawubira nako.
Amabaati Kasaija geyazizzaayo gabadde gabulako
Amabaati Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija geyazizzaayo ku sitoowa za Offiisi ya Ssaabaminisita e Namanve kigambibwa nti kwabadde kubulako 2. David Kayonga nga ono Senior Assistant Secretary for Finance and Administration mu offiisi ya Ssaabaminisita yateekebwa ku Sitoowa e Namanve okulondoola okulaba amabaati agakomezebwawo agamba nti Kasaija yakomezzaawo amabaati 298 mu kufo kya 300 wabula yasuubizza […]
Minisita Nandutu atwaliddwa ku Poliisi ya Kira Division
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force CP Polly Namaye avuddeyo nategeeza nga Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Karamoja Agnes Nandutu bwagiddwako sitaatimenti oluvannyuma lwekwetwala ku Poliisi ku misango eginoonyerezebwako okuli; ogwokukozesa obubi offiisi ye wamu n’okubba amabaati agaali ag’abantu abayinike e Karamoja. Namaye agamba nti Nandutu yaweereddwa bambega ba Poliisi okumuggyako sitaatimenti e […]
Minisita Kasaija azizzaayo amabaati geyafuna
Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija olunaku olwaleero azzizzaayo amabaati ku sitoowa ya Offiisi ya Ssaabaminisita esangibwa e Namanve geyafuna ku g’e Karamoja nga akyalindirira ba mbega ba Uganda Police Force okugekebejja okulaba omutindo n’omuwendo gaagwo galyoke gakwasibwe abakuuma sitoowa.
Baminisita ba Museveni bonna babbi – Rtd Col. Dr. Kizza Besigye
Munnakibiina kya Forum for Democratic Change – FDC Rtd Col Dr Kizza Besigye; “Baminisita ba Museveni babbi. Balinga nkima ezirabye amenvu ziba zaagala kuganyakula bunyakuzi buli bwezigalabye.”
Minisita Nandutu yewaddeyo mu mikono gya Poliisi
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Agnes Nandutu yewaddeyo mu mikono gya bambega ba Uganda Police Force aboonyereza ku nsonga z’amabaati g’e Karamoja. Wetwogerera mu kaseera kano ali ku kitebe kyabambega e Kibuli akunyizibwa.
Minisita Kitutu ne Nagoya bayimbuddwa
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Dr. Mary Gorretti Kitutu Kimono wamu ne Mulamu we Nagoya Micheal Kitutu bayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti. Minisita Kitutu alagiddwa okusasula obukadde 10 obwobuliwo ate abamweyimiridde bbo obukadde 200 obutali bwabuliwo. Ye Nagoya alagiddwa okusasula obukadde 3 ezobuliwo abamweyimiridde obukadde 100 buli omu. Bano bakudda mu Kkooti nga 27-April-2023.
Poliisi ekutte abakulu bamasomero e Mityana kubyekuusa ku mabaati
Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Mityana ekkute Abakulu ba masomero 2 nga bano ebalanga kuseresa mabaati agateeberezebwa okuba ag’e Karamoja ebibiina mu masomero gaabwe. Abakwatiddwa ye; Christine Nabukeera omukulu w’essomero lya Kitovu Primary School ne Enid Kunihira owa Bongole Primary School nga gano gasangibwa mu Ggombolola y’e Malangala mu Disitulikiti ye Mityana.