Katikkiro n’abakungu abalala batuuse mu Seattle

Katikkiro Mayiga atongozza ebyuuma ebizikiriza omuliro mu Masiro e Kasubi

Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza ebyuuma ebizikiriza omuliro mu Masiro e Kasubi. Bw’abadde atongoza ebyuma bino olwaleero e Kasubi mu masiro, Katikkiro yeebazizza Gavumenti ya Japan eyavujjiridde enteekateeka eno, bwe yawaayo $500,000, ng’eyita mu UNESCO, okugula ebyuma n’okubisiba mu masiro. Agambye nti abaweereza mu masiro basomeseddwa ku nkozesa y’ebyuma, kyokka abakugu baakugira basigalawo, babangule n’abasula […]

Sirina lwenja kuvaayo kwogera ku bulamu bwa Kabaka – Katikkiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Siri musawo era si nze muntu alina okujanjaba Kabaka naye kyensobola okubakakasa nti buli Kabaka bwalwala afuna obujanjabi obwekikugu okuva mu basawo abasinga. Obulamu bwomuntu kiba kyaama kye era sirina lwenja kuvaayo okwogera ku byobulamu bwa Kabaka.” #KatikkiroMayigaAt10

Sirina bukuubagano bwonna na Nnabagereka – Katikkiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Kikyaamu okulowooza nti nina obukuubagano ne Nnabagereka wa Buganda. Saaliwo kukutongoza akatabo ke kuba nali ku luwummula lw’emirimu. Mmwe abasobodde okusoma akatabo mujja kukizuula nti nze nawandiika ‘forward’. Mpagira Maama Nnabagereka era mpagidde nnyo ppolojekiti ze omuli e Kisakaate.”   #katikkiromayigaat10