Kitalo! Baker Kasigwa afudde
Kitalo! Eyaliko emunyeenye y’Eggwanga ku ttiimu y’Eggwanga eyomupiira ogwebigere Uganda Cranes Baker Kasigwa avudde mu bulamu bw’Ensi ngafiiridde mu maka ge e Kisalizi mu Disitulikiti ye Masindi. Kasigwa ye musambi yekka abadde akyali omulamu ku ttiimu ya Uganda eyagenda mu Bungereza okusamba omupiira mu 1956. Yali ne ku ttiimubeyetaba mu Africa Cup of Nations owa […]
Kitalo! Owek. Nelson Kawalya afudde!
Kitalo! Eyaliko Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Nelson Kawalya afudde. Owek. PDG Nelson Kawalya kati omugenzi ku Lwomukaaga oluwedde nga 14 December yali naboluganda awamu n’emikwano nga bamusanyukirako olw’okuweza emyaka 50 mu bufumbo obutukuvu. Gutusinze Ayi Ssaabasajja twakuumye bubi. #ffemmwemmweffe
Poliisi eyiiriddwa ku One Love Beach e Busaabala
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Oluvannyuma lwolunaku lw’eggulo okukola akabaga akamalako omwaka ak’abaana banaffe abattibwa, ababuzibwawo oba bebasiba olwokutuwagira, Gavumenti olwaleero ekedde kuyiwa basajja baayo bwebakitegeddeko nti tuteeseteese akabaga kabanafffe betubadde tukolagana nabo. Bano nga baduumirwa Asiimwe bakedde kuyiwa basajja baabwe ku makya nebakwata abakozi ssaako okukuba omukka ogubalagala […]
Gavumenti egenda kutandika okulondoola ebyamagero Abasumba byebakola – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yavuddeyo nategeeza nga Gavumenti bwegenda okutandika okwekkaanya ebyamagero ebikolebwa naddala Abasumba b’Abalokole okukakasa nti Bannayuganda tebalimbibwalimbibwa. Pulezidenti okwogera bino yabadde aggulawo ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande empya gyazimbye eya Temple Mount Church of All Nations at Mulago, Kampala. Pulezidenti yategeezezza nti yadde Gavumenti erina okussa ekitiibwa mu ddembe lyokusinza: nti wabula […]
Bobi Wine akyaliddeko ku Jose Chameleone mu Kampala Hospital
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nategeeza nga enkya yaleero bwayiseeko mu Ddwaliro e Nakasero okukebera ku munywanyi we Joseph Mayanja aka Jose Chameleone eyatwaliddwayo olunaku lweggulo. Bobi Wine agamba nti abasawo tebabakiriza kumulaba olw’ensonga nti eddagala likyamugonzezza. Kyagulanyi etegeezezza nti bamusabira era bamwagaliza okussuuka obulungi. #ffemmwemmweffe
Abakulu mu Poliisi basisinkanye omukyala eyakuluddwa mu katambi
Director of Operations AIGP Mwesigwa Frank olunaku olwaleero asisinkanye mukyala Adrian Victoria eyalabiddwako mu katambi ngakululwa mu bitaba abasirikale ba Uganda Police Force wamu ne muwala we nga bano ensisinkano ebadde ku Regional headquarters e Mbarara. Alagiddde bakole alipoota enzijuvu ku nsonga eno. Mu lukiiko luno mubaddemu ne Deputy Director of Human Rights & Legal […]
Birds of the same featjers… – Alien Skin
Patrick Mulwana aka AlienskinUg olunaku olwaleero akoze endagaano n’ekisinde kya Democratic Alliance (DA) ekirangiriddwa Omubaka Mathias Mpuuga Nsamba; “…lwakuba mukulu wange ebigambo byayogera byabuvunaanyizibwa …kazzi nange byenjogera byabuvunaanyizibwa naye biyisaamu amaaso. Sigenda kubawa mpoozi zemwagala kuwulira, sigenda kuyisaamu muntu yenna maaso yadde gwengenda okunyomoola……….naye ate olumu tetukozesebwa mu kulumba bantu era tetufunangayo kadde kafumintiriza nti […]
Bakutte omusaabaze n’emmundu mu Kisenyi Bus Terminal
Abebyokwerinda mu Kisenyi Bus Terminal bakutte omusaabaze abadde n’emmumdu ekika kya sub-machine gun (SMG) n’amasasi 24, magazine endala 2 ezijjudde amasasi, ejjambiya 3 wamu ne liita 1 eyamafuta ga petulooli nemiguwa.Akwatiddwa ye David Tumwine aka Busoni, ngabadde ava Kyotera ngayolekera mu Disitulikiti y’e Busia.Ono akujmirwa ku Poliisi ya Old Kampala gyatwaliddwa annyonyole gyabadde atwala emmundu […]
Kitalo! Ettabi liwaguse ku muti gwa Nakayimba lisse 4
Kitalo! Abantu 4 bebakakasiddwa okuba nga baafudde oluvannyuma lw’ettabi ku muti ogwebyafaayo oguyitibwa Nakayima ogusangibwa ku lusozi Bbooma okuwaguka nerikuna abantu abasoba mu 10. Kigambibwa nti enjega eno yaguddewo lunaku lweggulo ku ssaawa nga 12 ezokumakya, ngabakoseddwa bebamu ku bantu ababadde betegekera omukolo ogubadde gulina okubaawo olwaleero nga basiima Maama Nakayima. Abebyobuwangwa ku lusozi Bbooma […]