Abakedde okwekalakaasa olwa EACOP bayooleddwa
Waliwo ekibinja ky’Abavubuka nga 15 abakwatiddwa Uganda Police Force mu Kampala bano nga bagamba nti balwanirira butonde bwa Nsi nga begattira mu “Students Against Eacop Uganda” Movement, nga babadde bekalakaasa nga bawakanya East African Crude Oil Pipeline (Eacop) mu maaso ga Palamenti. Bya Kamali James #ffemmwemmweffe
Owa booda booda e Nansana atomedde abayizi bamukubye mizibu
Abatuuze e Nansana Kabumbi bavudde mu mbeera nebakuba omuvuzi wa booda booda ategerekeseeko erya Hassan naddusibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka nga bamulanga kutomera baana babiri ababadde bava ku ssomero. Abatuuze bategeezezza nti ono abadde avugisa kimama. #ffemmwemmweffe
Jack Sabiti yafuna ssente okuva ewa Museveni – Wafula Oguttu
Eyaliko akulira Oludda oluwabula Gavumenti, Phillip Wafula Oguttu, avuddeyo nategeeza nti Ssentebe wa Forum for Democratic Change FDC ekiwayi eky’e Najjanankumbi yasisinkana Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni era nateesa ku ssente eziba zimuweebwa. Oguttu agamba nti Sabiti yasaba Rtd Col. Dr. Kizza Besigye okumweyungako bagende bonna ewa Pulezidenti Museveni abawe ssente kuba baali bakadiye nga tebakyalina […]
Nkiyita kwegemulira kuba muwa ekitiibwa naye amazima yabba – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Kituufu munaffe yegemulira obukadde 500, nkozesa ekigambo okwegemulira lwa kumuwa kitiibwa naye amazima gali nti yazibba. Omuntu gwenjogerako mutaayi waffe; nze nakulemberamu ttiimu eyamuteeka mu kifo ekyo era simulinaako buzibu bwonna nga omuntu. Twagala kukola kintu kituufu era tubeere ekyokulabirako kuba abantu batutunuulidde neriiso […]
Ekyatuukawo e Kiteezi bwali bulagajjavu bwa Gavumenti – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Bingi ebyali bisobola okukolebwa nga enjega y’e Kiteezi tenatuukawo. Gavumenti yali yetaaga obuwumbi 6 bwokka okukyuusa gyeyiwa kasasiro naye nebategeeza nti ssente ezo zaali teziriiwo. Naye nga ssente ezibbibwa buli wiiki zaali zisobola bulungi okukola ku kino. Kyanaku nnyo nyi twafiirwa abantu baffe.” #ffemmwemmweffe