Kigambibwa nti Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine alumiziddwa mukavuvungano abawagizi be kebabaddemu ne Uganda Police Force e Bulindo. Kigambibwa nti yandiba nga akubiddwa essasi oba akaccupa ka tear ggaasi ku kugulu. Ebisingawo birindirire mu mawulire gaffe. Atwaliddwa mu Ddwaliro e Nsambya okulaba nti afuna obujanjabi. #ffemmwemmweffe
Mbirozankya tokyali mukulu wa Kika ky’Effumbe, walya nsowole – Kkooti ya Kisekwa
Kkooti ya Kisekwa eramudde ku bukulu Bw’Ekika ky’Effumbe, kya kufuna Omutaka omuggya oluvannyuma lw’okukizuula nti Yusuf Mbironzankya abadde nsowole. Kino kivudde ku nsala y’omusango ogwawabwa Katikkiro we Ssiga lya Magunda, James Walusimbi Kisasa, n’abalala mu kkooti ya Kiskewa, okukizuula nti Omutaka Yusuf Mbironzankya tali mu buufu bwa Kisitu Ntege omuva oyo alya obwa Walusimbi. Kkooti […]
MTN etonedde Night Ampurire emotoka ekika kya Nissan
Kkampuni y’ebyempuliziganya eya MTN Uganda olunaku olwaleero eduukiridde omukyala Night Ampurire eyalabikira mu mawulire ga NTV Uganda ngavuga emotoka ekika kya Pickup okutambuza ebibala byatunda ku luguudo lw’e Ntebe okusobola okulabirira abaana be 5, Night yasaba omuzira kisa yenna asobola okumuwa emotoka kuba gyabadde akozesa nkadde nnyo era olwaleero MTN emuwadde emotoka ekika kya Nissan […]
Bannakibiina kya NUP 3 bakwatiddwa e Gulu
Ekibiina kya National Unity Platform kivuddeyo nekitegeeza nga Uganda Police Force olunaku lw’eggulo bweyasazeeko offiisi z’ekibiina kino mu Kibuga Gulu nekwata abantu 3 okuli; Mungu Brian, Sebastian Ogoni ne Ocira Boniface. Mungu ne Ogoni basimbiddwa mu Kkooti nebavunaanibwa emisango Poliisi gyegamba nti bagizza emyezi egiyise. NUP egamba nti oluvannyuma RDC wa Gulu yavuddeyo nategeeza nti […]
Ssali n’Ababaka 3 begaanyi emisango egibavunaanibwa
Okuwulira omusango oguvunaanibwa eyali Omuwandiisi omukulu mu Minisitule y’Ebyobusuubuzi Geraldine Ssali wamu n’Ababaka 3 ne Munnamateeka ogwokubba obuwumbi 7 nga ssente zino zaalina okuliyirira aba Buyaka Growers Cooperative Society gutandise okuwulirwa ku Kkooti Enkulu evunaana abali b’enguzi n’abakenuzi mu Kampala. Bano bonna begaanye emisango gino egibavunaanibwa mu maaso g’omulamuzi Jane Kajuga. Ssali avunaanibwa wamu n’omubaka […]
Gavumenti y’e Saudi Arabia edduukiridde ababundabunda mu Nakivale
Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku bibamba n’ababundabunda Lillian Aber, ne Ambassador Mohammed Bin Khalil Faloudah owa Kingdom of Saudi Arabia olunaku olwaleero basimbudde mu butongole obuyambi bw’emmere bokisi 12,700 ze ttani 342 nga zibalirirwamu akawumbi 1 mu bukadde 80 nga yakugabibwa eri ababundabunda mu nkambi y’e Nakivale Refugee Camp esangibwa mu Disitulikiti y’e Isingiro. Nakivale ekwata […]
Eng. Bbosa namutta kuwolera kuttibwa kwa Kitange – Tabula Luggya
Tabula Luggya omuntu omukulu mu musango gw’okutta eyali Omukulu w’Ekika ky’Endiga Eng. Bbosa olunaku olwaleero atwaliddwa mu Kkooti ya Mwanga II nasomerwa emisango n’oluvannyuma nasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuuka nga 3-Ocotber-2024 lwenadda mu Kkooti ne banne 5 olwo basindikibwa mu Kkooti Enkulu batandike okuwerenemba n’emisango. Ono awuliddwako ngawera nti bbanja lya mwenge […]
Mpuuga ne banno ensala ya Kkooti mwagiggyawa nga Kkooti zaali mu luwummula – Gen. Ssejusa
Rtd. Gen. David Sejusa avuddeyo nakuba ebituli mu nsala ya Kkooti ku nsonga za Bakamisona abegemulira akasiimo; “Spire newuunya engeri Mpuuga ne banne gyebafunamu ensala ya Kkooti mu kaseera nga Kkooti yali mu luwummula? Nalina ebiwandiiko byenetaaga okuva mu Kkooti Enkulu, wabula nebatengeeza nzireyo wiiki eddako kuba Kkooti zaali mu luwummula. Naye olweggulo lwolunaku olwo […]
Sipiika wa Nakawa agulidde ba foot soldier ba NUP piki piki empya
Sipiika wa Kkanso ye Nakawa Luyombya Godfrey agulidde abawagizi ba National Unity Platform piki piki empya ttuku bano nga batuuze b’e Mutungo ngabasiima olwomulimu omulungi gwebakola okukunga abawagizi b’ekibiina. Ssenyonga Tom ne Ssenkuba Willy nga bano batambula kyalo ku kyalo ne bendera ya NUP ku piki piki yaabwe nga basaasanya engiri y’enkyuukakyuuka. #ffemmwemmweffe