Nebwanasalawo Palamenti kugituuza mu luguudo wakati ejja kutuula wo – Sipiika Among

Jack Sabiti yafuna ssente okuva ewa Museveni – Wafula Oguttu

Eyaliko akulira Oludda oluwabula Gavumenti, Phillip Wafula Oguttu, avuddeyo nategeeza nti Ssentebe wa Forum for Democratic Change FDC ekiwayi eky’e Najjanankumbi yasisinkana Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni era nateesa ku ssente eziba zimuweebwa. Oguttu agamba nti Sabiti yasaba Rtd Col. Dr. Kizza Besigye okumweyungako bagende bonna ewa Pulezidenti Museveni abawe ssente kuba baali bakadiye nga tebakyalina […]

Nkiyita kwegemulira kuba muwa ekitiibwa naye amazima yabba – Bobi Wine

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Kituufu munaffe yegemulira obukadde 500, nkozesa ekigambo okwegemulira lwa kumuwa kitiibwa naye amazima gali nti yazibba. Omuntu gwenjogerako mutaayi waffe; nze nakulemberamu ttiimu eyamuteeka mu kifo ekyo era simulinaako buzibu bwonna nga omuntu. Twagala kukola kintu kituufu era tubeere ekyokulabirako kuba abantu batutunuulidde neriiso […]

Ekyatuukawo e Kiteezi bwali bulagajjavu bwa Gavumenti – Bobi Wine

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Bingi ebyali bisobola okukolebwa nga enjega y’e Kiteezi tenatuukawo. Gavumenti yali yetaaga obuwumbi 6 bwokka okukyuusa gyeyiwa kasasiro naye nebategeeza nti ssente ezo zaali teziriiwo. Naye nga ssente ezibbibwa buli wiiki zaali zisobola bulungi okukola ku kino. Kyanaku nnyo nyi twafiirwa abantu baffe.” #ffemmwemmweffe

Tusaba kutusonyiwa olw’abantu bammwe abattibwa – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku lw’eggulo yasisinkanye famire okuli ey’omugenzi Col. (Rtd). Charles Okello Engola Macodwogo ne Zebra Ssenyange abattibwa abasirikale ba UPDF mu butanwa nabetondera. Engola yali Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi, emirimu wamu n’amakolero so nga Ssenyange yali mukubi wa bikonde. Pulezidenti Museveni ng’omuduumizi wa w’eggye owokuntikko yatumya famire zino zombi okuzetondera […]

Nali mpoolera Bbosa ne famire ye batta kitange – Tabula Luggya

Tabula Luggya omuntu omukulu mubavunaanibwa okwenyigira mu ttemu lyeyali omukulu w’ekika ky’e ndiga Eng. Bbosa Kakeedo olunaku lw’eggulo yatwaliddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Ronald Kayizzi okukola ‘Extra judicial statement’ ngeno ekolebwa omuntu abeera akirizza okuzza omusango mu maaso ga Uganda Police Force awatali kumukaka. Ono omulamuzi yasoose kumutegeeza nti akimanye buli […]

Minisitule y’Ebyensimbi egenda kufulumya obuwumbi 10 – Kabanda

Omubaka Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM akiikirira Kasambya County Daudi Kabanda avuddeyo ku mukutu gwe ogwa X nategeeza nga Minisitule y’Ebyensimbi bwerina enteekateeka yokufulumya ensimbi obuwumbi 10 buweebwe ekitongole ekimu so nga waliwo ebintu ebyenjawulo ebirala ebinyiga Eggwanga nga byetaaga ensimbi. #ffemmwemmweffe

Tunoonyezza Bwette naye talabikako – LOP Ssenyonyi

Akulira oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform Joel Ssenyonyi avuddeyo nategeeza nti bagezezzaako okuzuula Daniel Bwete eyaddukira mu Kkooti ku nsonga y’ensimbi akawumbi 1 mu obukadde 700 Bakamisona ba Palamenti zebegemulira nga akasiimo nga baagala okujjulira ku nsala ya Kkooti nti wabula ababuze nategeeza nti awo wandibaawo akazannyo mu Kkooti. Ono awakanyizza ebibadde […]

Entuula za Palamenti mu bitundu kuba kwonoona ssente ya Munnayuganda – LOP Ssenyonyi

Akulira Oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform, Joel Ssenyonyi avuddeyo nanenya Palamenti olwokuvaayo nebasiiga ettoomi ye n’Ababaka abali ku ludda oluvuganya Gavumenti nti basimbira ekkuuli ekiteeso kyokutuuza Palamenti mu bitundu by’Eggwanga ebyenjawulo lwa bukyaayi ku mawaga. Ono agamba nti tebanakyuusa kirowoozo kyabwe ku ntuula zino kuba byonna byakwonoona nsimbi yamuwi wa musolo. #ffemmwemmweffe

Kkampuni 8 endala zaagala kusonyiyibwa misolo

Gavumenti esabye Palamenti ekirize kkampuni 8 wamu n’abantu ssekinoomu okusonyiyibwa omusolo oguweza ensimbi obuwumbi 13 mu obukadde 391, nga bano bakosebwa olw’ekirwadde kya COVID-19 ekyagoya ensi wamu n’okubakosa obulamu bwabwe nga abantu. Wabula kinajjukirwa nti Uganda yafiirwa obwesedde 12 mu myaka 5 egiyise nga zino zafiira mu kusonyiwa misolo. Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’ensimbi Henry […]