UPDF erumbye enkambi za Kony 3 mu Central African Republic
Bakkomando b’Eggye lya UPDF nga bali wamu n’abasirikale b’eggye lya South Sudan People’s Defence Forces (SSPDF) wamu n’aba Central African Republic (CAR) bakoze ekikwekweto olwaleero ku nkambi 3 ezomumpembe Joseph Kony ezisangibwa mu buvanjuba bwa Sam Ouandja mu Central African Republic nebazisanyaawo era nebabowa n’ebintu ebyenjawulo. UPDF egamba nti yakukufugaza abayeekera bano bonna nga babanoonye […]
Abavubuka ba NUP bakozi ba ffujju buli wamu – Minisita Oryem
Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’Eggwanga Henry Okello Oryem; “Abawagizi ba National Unity Platform tebekalakaasangako mu mirembe wabula bakozi ba ffujjo wano mu Uganda n’Ebweru waalyo. Tebasaanye kusiimibwa nti bekalakaasa mu mirembe. Omubaka wa Uganda e Canada Acheng Joy Ruth tasaanye kulamulwa nga tusinziira ku butambi bwa ‘Social media’ ngalumba abawagizi ba NUP abaali […]
Lukwago ne banne bali mu katemba – Nandala Mafabi
Ssaabawandiisi wa Forum for Democratic Change – FDC ekiwayi ky’e Najjanankumbi Nathan Nandala – Mafabi: “Tukitegeddeko nti wabaddewo olukiiko lwabonna olwa FDC era nebayisa n’ekiteeso. Twagala okuluŋŋamya bwetuti: FDC kibiina ekyawandiisibwa mu mateeka n’Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission of Uganda, nga nabamu kwabo abeyita abakungu mu kibiina kino tebalina offiisi yonna mu FDC. […]
Amb. Henry Mayega atandise okunoonyerezebwako – Minisita Oryem
Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’Eggwanga Henry Okello Oryem, akakasizza ekyokulagira Omubaka wa Uganda mu Ggwanga lya United Arab Emirates (UAE), Amb. Henry Mayega okusooka addeko ebbali nga bwanoonyerezebwako ku bigambibwa nti yagula ebyuuma bya zzaala nebitikkibwa okuva mu Ggwanga lya Russia okutwalibwa e UAE nga ebintu ebyomugaso eri ekitebe kya Uganda nebafundikira nga […]
Poliisi ekutte Luggya Bbisa Tabula
Omwogezi wa Uganda Police Force Rusoke Kituuma avuddeyo nakakasa nga bwebakutte Luggya Bbosa Tabula nga ono ye muntu omukulu abadde anoonyezebwa mu ttemu eryakolebwa ku eyali omukulu w’Ekika ky’Endiga Engineer Daniel Bbosa. Poliisi egamba nti ono akwatoddwa olunaku olwaleero okuva ku Kyalo Kimerika-Nnamulonge mu Ggombolola y’e Busukuma nga akwatiddwa ekitongole kya Poliisi ekya Crime Intelligence […]
Abakulembeze ba Palamenti bagaanye okuteeka ekiteeso kyange ku order paper – Hon. Ssekikubo
Omubaka Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga County) avuddeyo nategeeza Palamenti nti wandibaawo ekkobaane okulemesa ekiteeso kye ekyokuggya obwesige mu Bakamisona ba Palamenti 4 abegemulira akasiima ka kawumbi 1 mu obukadde 700 kuba Obukulembeze bwa Palamenti bukyagaanye okukiteeka ku Order Paper so nga enaku 14 mwekirina okuleetebwa mu Palamenti okuteesebwako ziggwako ku bbalaza nga 19-August-2024 so nga olunaku […]
National ID ezaweddeko zakusigala nga zikola – Minisita Muhoozi
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga zomunda Ggwanga Gen. David Muhoozi avuddeyo nategeeza nti Gavumenti eyongezzaayo ebbanga ennangamuntu lwezinagwako. Ennangamuntu obukadde 15 mu emitwalo 80 zezibadde zirina okuggwako omwaka guno nga kati zakusigala nga zikola okutuusa mu December 2025. #ffemmwemmweffe
Mawanda talina musango bamuwalana lwakumpagira – Gen. Muhoozi
Mutabani wa Mukulembeze w’Eggwanga era Omuduumizi w’Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba avuddeyo ku mukutu gwe ogwa X: “Mukwano ggwange Michael Mawanda Maranga (akiikirira Igara East mu Disitulikiti y’e Bushenyi) ali mu kkomera (balowooza nti tujja kusirika ebbanga lyonna) nga abantu ababbye ssente z’Eggwanga ebyasa nebyasa bakyali Baminisita!? Muzeeyi alina okuwulira omulanga gwaffe ogw’enkyuukakyuuka. Mawanda […]
Omwami w’Essaza Bugerere atuuziddwa wamu n’Abamyuka be atuuziddwa
Omwami w’Essaza Bugerere atuuziddwa wamu n’Abamyuka be atuuziddwa ye Samuel Ssemugooma Ssengooba, Omumyuka we asooka Hajji Bashir Ziraba, n’Omumyuka Owookubiri, Mugerwa Patrick. Obulombolombo n’emikolo egy’obuwangwa egigendera ku mukolo gwokutuuza omwami wa Kabaka, gyonna gigobereddwa. Bwabadde atuuza Mugerere, Minisita Joseph Kawuki entanda gyamusibiridde agyesigamizza ku makulu g’effumu ng’ekimu ku byokulwanyisa ebikozesebwa mu kutaasa Nnamulondo. Muno mulimu, […]