KCCA muzzeeyo kasasiro wammwe – Mmeeya Fabrice
Mmeeya wa Entebe Municipality Fabrice Rulinda akulembeddemu Abakiise ku Lukiiko lwa Entebe Municipality okugaana ebimotoka bya kasasiro ebibadde byolekera e Nkumba okuyiwayo kasasiro. Rulinda agamba nti endagaano eyakoleddwa wakati wa Kampala Capital City Authority – KCCA ne Katabi Town Council kukweyambisa ekifo ky’e Nkumba awayiirwa kasasiro si ntuufu. Ono agamba nti ettaka eriweza yiika 14 […]
Baminisita basaana kutwalibwa batendekebwa bamanye kyebalina okukola – Hon. Odur
Omubaka akiikirira Erute South Jonathan Odur avuddeyo nasaba abakulu mu State House okuvaayo bategekeyo omusomo gwokutendeka ba Minisita bamanye kyebalina okukola kuba akizudde nti bangi ku bbo tebamanyi kyebalina kukola nga bangi ku bbo ne mu offiisi tebabeeramu. Ono agamba nti bwogenda mu offiisi zaabwe abayambi baabwe bakusaba owandiike akapapula bwebakamutwalira nakiraba nti Mubaka wa […]
Poliisi ekutte ekibinja ky’abavubuka abagambibwa okumenya amayumba
Omwogezi wa Uganda Police Force Rusoke Kituuma avuddeyo nategeeza nga Poliisi bwekoze ekikwekweto mu Kampala Metropolitan South nekwata ekibinja kyabavubuka abakozesa ejjambiya okubba nga bano kuliko: 1. Ssekibuule Bakari 25 nga mutuuze we Bunamwaya Ngobe, ngono yakwatiddwa nga 11, August, 2024, e Nateete. Bakari yakirizza okubeera omu ku kibinja ekitigomya Bannakampala era nalonkoma banne okuli: […]
Uganda yakafiirwa obuwumbi 638 lw’Ababaka butawa musolo
Minisitule y’Ebyensimbi evuddeyo netegeeza nti okusalawo okwakolebwa obutaggya ku Babaka ba Palamenti musolo ku musaala gwebafuna kyaviirako Uganda okufiirwa ensimbi obuwumbi 638 n’obukadde 600 mu misolo mu myaka 5 egiyise. Kino kyaddirira okukola enongosereza mu tteeka eya Income Tax Act mu 2016 Ababaka webakiririza okuggyawo omusolo ku nsimbi zonna nga bagamba nti baali bagezaako okukendeeza […]
Tetujja kugenda ku Poliisi, Nabbanja ajje wano e Kiteezi – Batuuze
Abatuuze e Kiteezi bavudde mu mbeera nga bawakanya ekiragiro kyokugenda okusisinkana Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister ku Kiteezi Police Station okwogerako gyebali. Bano bagamba nti Poliisi eri kiromita 5 okuva awagudde enjega nga tebalina na ssente zantambula zibaatuusa ku Poliisi. #ffemmwemmweffe
Ab’e Lusanja bagaanyi okubamenyera amayumba okukola ekkubo erituuka e Kiteezi
Bannanyini mayumba wamu n’abapangisa ku Kyalo Lusanja mu Disitulikiti y’e Wakiso bavudde mu mbeera nga bawakanya ekiragiro kya Gavumenti ekyokumenya ennyumba zaabwe okukola ekkubo tulakita ziwettiiye zisobole okuyitamu okutuuka ku kyalo ekirinaanye wo eky’e Kiteezi awagudde enjega kasasiro bweyabumbulukuse naggwiira amayumba. Abatuuze bagamba nti tebalina gyebagenda kudda ne famire zaabwe. #ffemmwemmweffe
Poliisi efulumizza olukalala lwabafiiridde mu njega y’e Kiteezi
Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango afulumizza olukalala lw’abantu abafiiridde mu njega eyagudde e Kiteezi nga bano kuliko: 1.Nasser 2. Nuwary Kironde 3. Sam Kajubi 4. Meddy Mubiru 5. Shamon Muhammed 6. Halima Nakalume 7. Mulikedete Phiona 8. 3 months old baby of Mukadete 9. Kasule James 10. Mukose Emmanuel 11. Grace daughter to […]
Nebaza Katonda olwokumpisa mu byenina okuyitamu ku Nsi – Hon. Namujju
Omubaka omukyala owa Disitulikti y’e Lwengo Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Cissy Namujju; “Abantu abamu ababadde bankyalirako mu babadde nga bakaaba naye nga mbagamba nti temukaaba kuba buli kyempitamu kyategekebwa ku kkalenda y’obulamu bwange. Nebaza Katonda olwokunsobozesa okugoberera kkalenda y’obulamu bwange. Si kirungi kwagaliza muntu kkomera, naye kirungi nnyo buli muntu ayiteko mu […]
LOP buli kimu akiwakanya – Hon. Alyek
Omubaka omukyala owa Disitulikiti ye Kole, Judith Alyek Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM yavuddeyo nayambalira akulira Oludda oluwabula Gavumenti Joel Ssenyonyi olwokuvaayo nategeeza nti ensimbi obuwumbi obugenda okusaasanyizibwa ku buli lutuula lwa Palamenti mu bitundu by’Eggwanga ebyenjawulo kuba kwonoona ssente ya muwi w’omusolo nga zandibadde zeyambisibwa ku bintu ebigasa abantu; “Kwonoona nsimbi ki […]