Teri kuwandiisa bakozi ba Gavumenti bapya omwaka gwebyensimbi guno – Ramadhan Ggoobi
Omuwandiisi omukulu mu Minisitule y’ebyensimbi Ramadhan Ggoobi avuddeyo nategeeza mu mwaka gw’ebyensimbi 2024/25 Gavumenti eyimirizza okuyingiza abakozi abapya kababe nga ba Kkontulakiti oba nga bayise mu Public Service okuleka nga bajjuza kifo olwomuntu abaddewo okuba nga takyasobola kukola, awateereddwa ssente okufuna abasomesa wamu n’abasawo abali wansi wa Pulogulaamu ya UGIFT mpozzi nabo abafunye olukusa okuva […]
Mwe abagamba nti babasiyigira mu Poliisi mujje muwaabe – ACP Kituuma
Omwogezi wa Uganda Police Force ACP Kituuma Rusoke avudddeyo nawanjagira abo bonna abakwatibwa mu kwekalakaasa abagamba nti bwebaali mu buduukulu bwa Poliisi obwenjawulo bakolebwako ebikolwa ebyensonyi omwali n’okubavuga empanka okuvaayo mu bunnambiro bagende baggulewo emisango ku Poliisi ebali okumpi.
Bannabitone mukimanye nti obumanyifu tebujjira mu mwezi – Katikkiro
Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Bannabitone basaana okukimanya nti obumanyifu tebujjira mu mwezi oba mwaka gumu, butwala ebbanga, n’olwekyo beewale eby’okucamuukiriza. Iryn Namubiru amaze ebbanga ng’ayimba, n’akuza ekitone kye, era ayoolesezza obumanyirivu ng’olaba buli muntu asiima nga n’ennyimba ze abantu bazimanyi. Tukubiriza Bannabitone okuggyayo bye bakola mu ngeri esaanidde awatali kuwemula oba kwambala bubi.”
Ndi Katikkiro wa Buganda muzima – Katikkiro Mayiga
Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Nze ndi Katikkiro wa Buganda ‘Muzima’ sisobola kudda ku mutimbagano nempuliriza abantu abatalina makulu kubanga ebibavaamu tebingattako. Nze obudde bwange obw’eddembe mbumala nsoma oba nga mpandiika.” #amatikkira31
SC Villa egobye omutendesi Stojanovic
##SimbaSportsUpdates; Kiraabu ya SC Villa evuddeyo netegeeza nga bwetuuse ku nzikiriziganya nabadde omutendesi waabwe Dustan Stojanovic okugenda mu mirembe. Morley Byekwaso alondeddwa ng’omutendesi ow’ekiseera. Dustan bamusiimye olw’emirimu ettendo gyakoledde kiraabu eno mu kaseera wabeeredde omutendesi nga yabatuusa ne kubuwanguzi bw’ekikop9 kya liigi sizoni ewedde. #thejogoos
Ekitebe ky’Amerika kinenyezza Poliisi olwokukwata abekalakaasa mu mirembe
Ekitebe ky’Eggwanga lya Amerika mu Uganda kivuddeyo nekiraga obwennyamivu ku ngeri Bannayuganda abasoba mu 90 abavuddeyo okwekalakaasa mu mirembe nga balaga obutali bumativu bwabwe ku buli bw’enguzi n’obukenuzi gyebakwatiddwamu. Ekitebe kisabye wabeewo okunoonyereza ku bigambibwa nti waliwo abantu abatulugunyiziddwa nti era nabo abakikoze basaanye bavunaanibwe. Ekitebe kisiimye nnyo emikutu gy’amawulire era kigisaba okugenda mu maaso […]
Poliisi etubuulire Wambi gyali – Rubongoya
Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo omuwagizi wa NUP Wambi Peter eyakwatibwa ku lunaku olwa bbalaza bweyali agenda mu lukiiko lwa Bannamawulire ku Kavvule. Rubongoya agamba nti nokutuusa olwaleero ono tamanyiddwako mayitire nga n’abafamire basobeddwa eka ne mu kibira. Photo credit: Reuters
Ekitebe kya Norway kigaddewo mu Uganda
Ekitebe ky’Eggwanga lya Norway mu Uganda olunaku olwaleero kigaddwawo mu butongole. Ku mukutu gwa X ogw’ekitebe bategeezezza nti bbendera y’Eggwanga lino asiddwa omulundi ogusembayo mu Uganda nti wabula enkolagana wakati w’amawanga gombiriri yakusigalawo. . #Farewell #NorwayLovesUganda
Newuumya Ssewungu byayogera – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Waliwo omusajja ayagala ennyo okusaagirira gwebayita Ssewungu. Ntera nnyo okugoberera abantu abo abatali nnyo bamugaso. Nawulidde agamba nti olwokuba enguudo zaffe ziyisa emotoka 2 obubenje kyebuva bubeera obungi nti era tulina kukyuusa tuzimbe eziyisa emotoka 4. Nolaba abantu abakulu nga boogera nga abaana abato.”