Aba Our Lady of Carmel Busuubizi bajaguzza emyaka 125
Omuyuuka w’Omukulembeze w’Eggwanga Rtd. Maj Jessica Alupo avuddeyo nasiima Abakatuliki olwokulafubana ennyo okulaba nti batumbula enkola za Gavumenti ezenjawulo ezigenderera okugoba obwavu mu bantu. Alupo okwogera bino abadde Mityana aba Our Lady of Carmel Busuubizi Catholic Parish esangibwa mu Kiyinda – Mityana Diocese kwebajaguliza okuweza emyaka 125 okuva lweyatandikibwawo. Alupo yasabye Abakulu b’eddiini okuvaayo bakwataganire […]
Buganda yakuzimba ekyuuma kyayo ekisunsula emmwaanyi e Nakisunga
“Gavumenti ya Ssaabasajja esaba abantu ba Buganda okugenda mu maaso n’okulima emmwanyi era Obwakabaka bwawadde ekitongole kya Mwanyi Terimba Limited ettaka e Nakisunga ewagenda okuzimbibwa ekyuma ekisunsula emmwanyi n’ekisiika kaawa okwongera okugatta omutindo ku mmwanyi” – Oweek. Waggwa Nsibirwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro #EmmwanyiTerimba
5 balumiziddwa mu kabenje akagudde ku Entebe Express Way
Abantu 5 balumiziddwa byansusso, 8 nebabuukawo n’ebisago ebitonotono mu kabenje akagudde ku luguudo lwa Entebe Espress Way loole ya Kkampuni ya Coca-Cola Beverages Uganda bwetomereganye ne Takisi ya kkampuni ya Fly Express kiromita 4 e Kajjansi ngodda e Busega ekireeseewo akalippagano k’ebidduka. Kigambibwa nti akabenje kavudde kukuvuga endiima wamu n’okuyisiza ku ludda olukyamu. #ffemmwemmweffe
MPOX azinzeeko Disitulikiti y’e Luweero
Abakulira eby’obulamu mu Disitulikiti y’e Luweero balabudde abantu bonna okwetanira Amalwaliro singa bafuna embeera gyebatategeera era basabiddwa okuddamu okwewa amabanga, okwewala okukwata abantu mu ngalo wamu n’okunyiikira okunaaba mu ngalo okulaba nga basobola okwewala okusaasaanya ekirwadde kya MPOX ekibaluseewo mu Disitulikiti eno. Bano okuvaayo kidiridde abakulira ebyobulamu mu Disitulikiti eno okulangirira nga bwezindiddwa ekirwadde kya […]
Kitalo! 6 bafiiridde mu kabenje e Kakira
Kitalo! Abantu 6 bafiiriddewo mbulaga n’abalala 8 nebaddusibwa mu malwaliro ng’embeera mbi ddala takisi eyakazibwako erya Drone bwetomedde loole y’ebikajjo ebadde ku mabbali goluguudo ku luguudo lwa Jinja-Iganga e Kakira. Akabenje kagudde ku ssaawa nga mwenda ezookumakya Takisi nnamba UBP 574J ebadde eva e Iganga bweyingiridde loole y’ebikajjo nnamba UAF 333B. Aberabiddeko nagaabwe bategeezezza nti […]
Poliisi eyigga Omubaka John Kamara ku byokubba obululu e Kisoro – Elly Maate
Omwogezi wa Uganda Police Force owettunduttundu lye Kigezi Elly Maate, avuddeyo nategeeza nga bwebatandise omuyiggo gw’Omubaka Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM owa Bufumbira North, John Kamara Nizeyimana, kubigambibwa nti yenyigidde mu kubba obululu ku Busanani polling station mu Disitulikiti y’e Kisoro. Maate agamba nti yadde okulonda kubadde kukkakamu, mubaddemu effujjo ttonotono erikoleddwa abawagizi […]
Uganda Cranes ne South Africa ziyiseemu okugenda mu AFCON e Morocco
Ttiimu y’Eggwanga eyomupiira ogwebigere Uganda Cranes eyiseemu okugenda okwetaba mu kikopo kya AFCON 2025 e Morocco. Uganda Cranes ne Bafana Bafana eya South Africa zeziyiseemu mu Kibinja nga wadde tebanasamba mupiira gwankya. #ffemmwemmweffe
Owa Independet awangudde akalulu e Kisoro
Akifeza Grace Ngabirano eyesimbyeewo ku Independent yalangiriddwa ngomuwanguzi ku kifo ky’Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kisoro, naddirirwa eyakwatidde ekibiina kya National Resistance Movement – NRM Rose Kabagenyi, Munnakibiina kya National Unity Platform Sultana Salim nakwata kyakusatu. #ffemmwemmweffe
Poliisi terina ttaka e Kanawataka – Minisita Mayanja
Lyabadde ssanyu nakujaganya olunaku lweggulo abatuuze okuva mu zone 5 bwebabadde bazzibwa ku ttaka lyabwe. Abatuuze mu Zone okuli; Katogo, Kiganda, Kasokoso, Kireka ne Kinawataka babadde bagobanyizibwa Uganda Police Force ngegamba nti bano besenza ku ttaka lyayo. Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyettaka Sam Mayanja yategeezezza abatuuze nti oluvannyuma lwa State House Anti Corruption Unit […]