Abazukkulu musigale nga muli bumu – Abataka
Abataka Abakulu Ab’obusolya batudde mu lukiiko lwabwe Ttabamiruka olw’omulundi ogw’okutaano omwaka guno. Ab’Ekika ky’Emmamba Namakaka banjudde Katikkiro waabwe omuggya ate ab’Ekika kye Nkerebwe nabo banjudde Abamyuka ba Katikkiro waabwe. Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Omutaka Augustine Kizito Mutumba asabye abaweereddwa obuvunaanyizibwa okubukola obulungi, naddala okukumaakuma abazukkulu basigale nga bali bumu.
Ssekikubo ne banne bawezezza emikono gyebabadde bakungaanya
Ababaka ba Palamenti nga bakulemberwamu Theodro Ssekikubo abetiba eddimu lwokukungaanya emikono ku kiteeso kyokuggya obwesige mu Bakamisona ba Palamenti abegemulira akasiimo nga bagamba nti kino kyali kikolwa kyakulya enguzi basambira nnyuma nga jjanzi oluvannyuma lw’okuweza emikono 177 gyebabadde betaaga.
Omubaka Zzaake ne banne bayimbuddwa
Ababaka Bannakibiina kya National Unity Platform abakwatibwa ku lunaku lwa bbalaza okuva ku kitebe ky’ekibiina ku Kavule okuli MP Zaake Francis Butebi, Charles Ttebandeke ne Hassan Kirumira Lukalidde bakiriziddwa okweyimirirwa mu Kkooti y’omulamuzi ye LDC.
Lubega Obed aka Reign ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti
Omubaka omukyala owa Kampala era Munnamateeka Hon. Shamim Malende avuddeyo nategeeza ng’Omulamuzi wa Kkooti ya Mwanga II e Mengo akirizza Lubega Obed aka Reign okweyimirirwa ku kakalu ka Kkooti ka Kakadde kamu akobuliwo ate abamweyimiridde obukadde 10 buli omu ezitali zabuliwo. Ono avunaaniddwa omusango gwokugezaako okuzza omusango kwokusaasaanya obubaka obwobulabe.
Abakedde okwekalakaasa bakwatiddwa Poliisi
Waliwo Abavubuka abakwatiddwa abebyokwerinda mu Kampala enkya yaleero nga bano babadde bavuddeyo okwekalakaasa ngabalaga obutali bumativu bwabwe ku buli bw’enguzi obukudde ejjembe mu Ggwanga nga babadde boolekera Palamenti. Bano babadde n’ebipande nga bawandiiseeko ebigambo nti Sipiika wa Palamenti alina okulekulira. Bano babadde batambula okuva mu Nasser Road nga boolekera Palamenti. Bano babakwatidde ku Railway Grounds.
Pulezidenti nnyamba abaana bangoba mu nnyumba – Winfred Rurangaranga
Mukyala w’omugenzi Maj. Edward Rurangaranga eyali Munnakibiina kya Uganda Peoples Congress Official, Winfred Rurangaranga, avuddeyo neyekubira enduulu eri Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ayingire mu nsonga ze kuba waliwo abaana bamuggya we abesomye okumugoba mu maka agasangibwa e Rukondo, Kitagata Town Council, mu Disitulikiti y’e Sheema, Ono agamba nti obuzibu buva kwani alina okuddukanya ebintu byomugenzi […]
Bannayuganda mwebale butenyigira mu kwekalakaasa – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Njagala okuyozayoza ebitongole b’ebyokwekrinda wamu ne Bannayuganda olwobutenyigira mu kwekalakaasa okubi okwabadde kutegekeddwa ku lwokubiri. Okwekalakaasa okwo kwabaddemu ebintu ebibi 2; ekisooka Abazungu bebabadde bakutaddemu ssente nga bamaze ebbanga nga beyingiza mu nsonga za Afirika. Ekyokubiri, abategeka okwekalakaasa kuno nabo abakwenyigiramu baali bategeka okukola ebintu ebikyaamu ku Bannayuganda.”
Agambibwa okulya omwana ow’emyaka 16 ebisiyaga asindikiddwa e Luzira
Waliwo omukozi w’ekitongole ekyobwannakyeewa ekimu e Kanyanya mu Gombolola y’e Kawempe Kavuma Godfrey asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti y’e Kasangati nasomerwa omusango gwokusiyiga omwana ow’emyaka 16 ngamusiiga yoghurt emabega. Kigambibwa nti oluvannyuma lwokwekubira enduulu ku Poliisi Kavuma n’ekitongole kye bajjanjaba omwana ono eyali avuddeyo ekyenda nekiddayo naye nga mukaseera kano takyasobola kutuula ku kintu […]
Pulezidenti alagidde CID ekwate abakozi ba Gavumenti abatondawo abakozi abataliiyo
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alagidde ekitongole kya Uganda Police Force ekyabambega ekya Criminal Investigations Directorate (CID), okunoonyereza wamu n’okuvunaana abakozi ba Gavumenti bonna abenyigira mu kutondawo enkalala z’Abakozi ba Gavumenti abataliiyo wabula nga basasulwa omusaala okuva mu Gauvmenti.